Home         Translations         About Us   
search  
 

EKIZIBU KYE DDINI

Download The Words
to your computer

Mwegendereze nyo eddini, obulamu bwamwe buleme kufugibwa eddini.

Mwerabidde mu kaseera mpawekaaga emigaati ettaano egyalibwa abantu enkumi ettaano newafikawo ebisero kumi nabibiri ebyobukunkumuka. Temukyajukira emigaati omusanvu egyalibwa abantu enkumi enya newafikawo obukunkumuka enfafa. Wewawo mbajukiza kubyemigaati naye sikyekikulu naye njagala okubalabula okwegendereza ebigambo ebyobulimba nengigiriza enkyamu eri abo abenonyeza ebyabwe nga bayita muddini Mak. 8:18-21.

Banaddini basinza mubunanfusi nga bayigiriza empisa ezaabwe kulwabwe. Befunyiridde kukola ebyobuwangwa nebilala mukifo ky'okuyigiriza amateeka gange. Mak 7:7-9.

Mwegendereze abasomesa abambadde amaliba gendiga ngamunda mubo emisege emikambwe. Omukulembeze wabwe owanamaddala ye Setaani era bakola byayagala. Okuva kutandikwa Setaani mutemu era tayogera mazima. Ye mulimba era yekitaawe wobulimba eyo yempisa ye. Mat 7:15 ne Yok 8:44.

Eri abanyazi abetaddewo okuba abalamuzi mbagamba bwenti, omusango gumaze okubasinga. Mwe abakulembeze bamaddini bananfusi muggalawo enzigi zobwakabaka bwomuggulu eri abo abagala okuyingira. Temuyingire mwemwenyini ate nemuteekera emisanvu abagala okuyingira muggulu.

Munyaga banamwandu nga mwefuula ababaw'emikisa nokubasabira essaala empanvu. Mulabye kubanga mulisikira bikolimo.

Mutambula nga muddiringana eruyi ne ruyi nga muwayo omuntu owokulokola ate mumufuna nemumufula  mubinyo okusinga bwabadde. 

Mubulira nti yeekaalu siyamugaso nti ekisinga obukulu lyegwanika lye yeekaalu.

Kiki ekisisnga obukulu zaabu eri mugwanika oba egwanika eritukuza zaabu?

Era mugambe nti wolutaali siyamugaso naye ekirabo ekigiriko kyekyomugaso.

Muli basiru, era bamuzibe, kiki ekisinga kinaakyo, ekirabo ekiri ku wolutaali oba wolutaali etukuza ekirabo?

Oyo asaamu ekitiibwa wolutaali, asaamu ekitiibwa nekigiriko. Oyo asaamu ekitiibwa yeekaalu era asaamu ekitibwa abeera munda muyo. Oyo asaamu ekitibwa eggulu asaamu ekitiibwa Namulondo ya Katonda noyo agitulako.

Mwe banafunsi muwa ekitundu eky'ekumi ekya Nabbugira ne Aneta ne kkumino ebimera mumaaso g'enju zammwe mukiseera kyekimu nemwerabira ebisinga obukulu ebiri mu mateeka nga omusango, okusaasira, okukiriza n'ebintu ebirala ebibakwatako.

Temulengera wala. Mujja akawuka akatono mu mubisi naye munyweramu ensowera. Ne munaaza kukungulu kubikopo ne kubibya songa munda mulesemu ekko nobukyafu. Kitalo! musooke okugyawo obukyafu munda ebweru nayo ejja kulongoka.

Mwe abasomesa abalimba, mubunanfusi bwamwe mulinganga amalalo agasiigiddwa langi kungulu naye nga munda gajudde ekivundu kyabafu. Abantu babawana olweneyisa yamwe songa munda mummwe muli bananfusi. Muyinza mutya okuba nokukiriza Katonda nga munonya kusimibwa bantu naye siye? Mat. 23:13 - 28.

Muzimba amalaato gabanabbi nemuteeka ebimuli ku malaalo gabatukirivu nga bwemugamba nti senga twaliwo tetwandikiriza kuyiwa musaayi gwabwe. Temumanyi nti muba mwewaako obujulizi ngabwemuli abaana baabo abatta banabbi ate nebikolwa byammwe bisinga obubi ebyaabwe.

Mwe emisota emikambwe egyebiro bino mulowooza nti muyinza okwewala Geyena? Mukitegere ngenda kubatumira banabbi nabagezigezi, nabasomesa, abamu mulibatta, mulibakomerera, nabalala mulibakuba nga mubabonyabonya okuva mubibuga. Mat 23:29 - 34.

Obunanfusi obwekika ekyo Isaaya yabwogerako ngagamba nti abantu bano bagya gyendi ngabanzisamu ekitibwa ekyokumimwa songa emitima gyaabwe gindiwala Mat 17:7 - 8. 

Mwegulumiriza mumaaso gabantu songa katonda amanyi emitima gyammwe. Temumanyi nti obutukuvu obusimibwa abantu tebusanyusa mumaaso gakatonda Lk 16:15.

Mwegendereze nnyo kubanga abantu baliva ebuvanjuba nebugwanjuba nebatuula ne Ibulayimu, Isaaka, ne Yakubo mubwakabaka bwa Katonda naye mmwe abalowooza okuyingira nemugobebwa ebweru okugyako nga obutukirivu bwamwe businga obwa banaddini, temuliyingira na katono Mat 8:11,12 and 5:20.

OMUSANA OGUMULISA ENSI

Nzize okuba omusana eri ensi, buli muntu anzikiriza tagenda kusigala mukizikiza. Nze ndi musana ogumulisa ensi. Abagoberezi bange bonna tebaliddayo kutambulira mu nzikiza naye bajja kuberanga mumusana Yok. 12:46 ne 8:12.

Ekigezo kikino - omusana ogwenkanidde awo guzze munsi naye abagirimu baagala kizikiza okusinga omusana kubanga ebikolwa byabwe byakwemanya nomululu. Abo abawaddeyo obulamu babwe olwekibi tebagala musana namazima, batya nti ebikolwa byabwe bijja kulabibwa banenyezebwe. Naye abo abaagala amazima tebatya musana kubanga bagala abikolwa byabwe bilabibwe basanyuse Katonda Yok 3:19 - 21.

Lumu wagenda mu Ddungu okulaba Nabbi - Yokana omubatiza yakulaga ekituufu. Yali muliro era ettaala eyaka. Walabika nti wasanyukira mu musana ogwo naye akaseera katono. Naye nina omujulizi asinga Yokaana. Omulimu gwakitange gwampadde okumaliriza era gwenkola gukakasa nti yetantuma.

Singa mbadde sikola mulimu gwakitange mwandibadde baddembe obutanzikiriza naye oba nkola emirimugye nebwemuba temunzikiriza mukirize emirimu gyenkola. Awo nno mugya kumanya era mukirize nti kitange ali munze. Kubanga byonna byemukola mukyama bijja kulabika mulwaatu. Nebyo ebikoleddwa bigenda kuzulibwa. Kye mbategeeza kakati mukyama kigenda kwogerebwa mulwaatu era Omwoyo kyayogera mu kaama kigenda kwanjulwa Kunyumba waggulu. Luk 8:16 Mat 5:14 - 16, Lk 8:17 Mat 10:27.

Ettaala yomubiri lye liiso.  Eliiso lyo bweliba eddamu, obulamu bwo bwonna bujjulla ekitangaala.  Naye eliiso lyo bwe liba lijudde obubi, obulamu bwo bwonna buba, bujudde ekizikiza.  Bwekityo bwekiba nti ekizikiza.  Kikujuddekyamutawaana nyo.  Mat 6:22,23

Olunaku telukina ssaawa kkumi na bbiri ezemisana?  Bwotambula emisana tewesittala olwekitangaala nayoe bwotambula ekin wesaanga ogude, kubanga tolaba.  Mutambule ng˛musana gukyayaka kuganga ne'kiro kiri kumpi.  Abatembulira kizikiza muzibe.  Omuzibe bwakulembera muzibe munne bonna babula. Yoh 11:9-10 ne 12:35.

Tiyinza kukoleza ttoala nogibikako kibbo oba nogiteeka wansi wekitanda naye ogiteka waggulu kummeeza exxobole okumulisa abo abali munju.

Era toyinza kukoleeza ttaalanogiteeka mukisero maye ogiteeka waggulu wa kameaaza esobole kwakira buli muntu.

Temukimanyi nti mwe muli musana gwansi? Mulinganga ekibuga ekizimbiddwa kulusozi ekitayinza kwekisa.  Omusana gwammwe gwakenga bwegutyo Ún'abantu balabe ebikolwa byammwe ebitungi balyoke batundereze kitammwe ali mugulu.  Buli kyemukola kyomma munkweko kino bikulibwanga era nelyo ekiri mukyaama olunaku lunu kiri lagibwa mulwaatu.

Kyembabulira kakati mukyaana mukyatulenga mulujudde era buli omwoyo kyanayogeranga gyemuli mukaama mukyogerere waggulu. Luk 8:16 ne Mat 5:14

OKUBIKKULIRWA

Ekiseera kijja omwana w'omuntu lwa lirabisibwa era nawebwa ekitibwa Yok: 12:23

Sijja kulwange nganoonya kitiibwa naye waliwo ayagala ngulumizibwe era yalisalira omusango abatanjagala Yok: 8:50.

Mumateeka agawandiikiddwa abantu gagamba nti obujulizi obwabantu ababiri obufanagana buba butuufu. Nze nawaako obujulizi ne kitange eyantuma abukakasa. Nkimanyi nti obujulizi bwampaako butuufu era nolwekyo setaaga bujulizi bwababntu Yok: 8:17, 18 Yok: 5:32, 24.

Oyo eyeyogerako yekka akikola lwakwagala kwegulumiza naye oyo akola olwobutukirivu ne kitiibwa kyooyo eyamutuma mutuufu era temuli bulimba muye. Yok 1:18.

Sizze kulwanga naye ntumiddwa oyo owamazima. Sivudde muggulu kukola byange naye ebyoyo Kitaffe byayagala. Nazaalibwa nenzija munsi eno olwensonga eyo okuba omujulizi omulamu era owamazima. Abo abagala amazima bangoberere Yok 7:28, 6:38, 18:37

Nze ne kitange tuli bumu mulinya lye mwenzijidde. Nzize mube nobulamu era mube nabwo mubujuvu. Yok 10:30, 10:10, 9.

Obuyinza bumpereddwa Muggulu ne Kunsi. Nze mbawa obulamu obutaggwawo, nebisumuluzo byobwakabaka obwomugulu era namaanyi agasinga agomulabe. N'olwekyo omutima gwo tegusagasagananga era totya emirembe mbawa egisinga ensi eno gyembawa. Bwemumanya amazima, galibafuula abeddembe. Omwana wakatonda bwakusumulula ogenda okuba ne mirembe egyanamaddala. Kino nkyogedde mubere nokukiriza mulyoke mukyusibwe Yok 10:28, 14:27, 8:32,36, 15:11.

Katonda eyantuma asiima kino nti buli atunuulira omwana namukiriza afuna obulamu obutaggwawo. Buli anzikiriza ndimuzuukiriza kulunaku olwenkomerero. Mukirize omwana wa katonda y'oyo ayogera gyemuli. Yok 6:40, 9:35, 37.

EKIGAMBO EKIRAMU

Kitange eyantuma andagidde ebyokubagamba.  Manyi nti ebigambo bye bituusa omuntu mubulamu obutaggwawo. Buli kyandagidde okwogera, kyenjogera. Yok: 12:49, 50

Ebigambo bino byenjogera sibyange biva eri Kitange eyantuma. Abo abawulira byenjogera nebakkiriza oyo eyantuma baliba nobulamu obutaggwawo. Tebalinenyezebwa naye baliva mukufa ne bafuna obulamu Yok 14:24, 5:24.

Muwulirize, ekiseera kijja ate era kituuse abafu lwebaliwulira eddoboozi ly'omwana wa Katonda era buli aliriwulira aliba mulamu Yok 5:25.

Munonyereza ebiwandiiko byobunabbi obwedda mbu mufune obulamu obutaggwawo ate nga mbyogerako naye temwagala kujja gyendi mufune obulamu bwemunoonya Yok 5:39, 40.

Wadde temumulaba mubuntu ate era tayogera nammwe muddoboozi ly'omwanguka kitange yeyogerako. Olw'obutakiriza nze Kitange gweyatuma muba mugaanye okuwulira eddoboozi lya Katonda y'enyini Yok 5:37,38.

Nze ne kitange tuli omuntu omu, Nzize mulinnya lye okubawa obulamu, mufune mu bujjuvu.  Yok 10:30; 10:10,9

Mpereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi mbawa obulamu obutaggwaawo n'ebisumuluzo byo bwakabaka obwo mu ggulu namaanyi agawangula amaanyi go mulabe kale emitima gyammwe gyeraliikira, mbawa emirembe gyange, emirembe egisinga okutegeerwa ansi gye tasobola kuwa.  Mulitegeera amazima, era amazima gali bafula abe ddembe, singa omwana wa katonda abasumulula, muliba ba ddembe ddala.  Mbabulira bino mubeere no ku kkiriza, era mukyusibwe.  Yok 10:28; 14:27; 8:32,36; 15:11

Kuno kwagala kwa katonda eyantuma nti buli anzikkiriza allifuna obulamu obutaggwaawo, ate bwe mu nzikkiriza ndi bazuukiza kulunaku olwe nkomerero. Naye mukkiriza omwana wa Katonda?  Ye wuuyo ayogera nammwe.  Yok 6:40; 9:35, 37.

KITAMMWE

Yesu Kristo mumulowoozako ki? Mwana wani? Mat 22:42

Tewali amanyi mutabani wa katonda okujjako kitaawe ali muggulu. Era tewali ayinza kumanya kitaawe okujjako omwana oyo gw'amulaze. Neguno gujwa temumanyi nga nze kyenvudde nzijja ngantumiddwa gyemuli okuva gyali Mat.11:27.

Oyo antumye aliwano nange kakati. Tandeka nzeka kubanga buli kyenkola kimusanyusa. Kambategeze nti bwemulaba nze muba mulabye ye. Lwaki mumbuza nti mbamulage ye. Temukiriza nti tuli kimu nekitange nekitange tuli bumu naye. Lk 18:2-8. Buli kitange kyalina kyange.  Nvudde eri kitange nenzija munsi era ngenda kuddayo nate ewa kitange Yok 8:29. Tewali mwana kyayinza kola kululwe naye akola ebyo kitaawe byakola era kitaawe amwagala. Kyenvudde mbalaga ebyama byonna era mujja kulaba ebyamagero ebisinga nebyo bwemwali mulabyeeko.

Nga kitange bwazukiza abafu nabawa obulamu nomwana bwatyo aliwa obulamu oyo yenna gwayagala. Yok.5:19 - 21.

Nokusala emisango sisala kulwange. Nsala okusinzira kukatonda kyayagala. Nga kitange bwalina obuyinza okuwa obulamu nomwana alina ekirabo ekyo era awereddwa obuyinza okusala emisango kubanga ye Kristo omwana w'omuntu. Yok 5:19, 26, 27, 30.

Ebigambo bino nabyogera okuvira ddala kutandiikwa. Bingi mubulamu bwammwe ebisalirwa emisango naye nzize nobubaka obw'enjawulo obumpereddwa oyo owamazima. Buno bwebubaka bwembulira ensi Yok.8:25, 26.

Kunkomerero nga mumaze okukomerera omwana w'omuntu mulitegeera kyali, nemumanya nti tewali kyenakola kulwange naye nga buli kimu kyava eri Kitange eyantuma okubyogera. Yok 8:28.  

OMUSUMBA OMULUNGI

Temutya edinga zange. Ssanyu lyakitammwe okubawa obwakabaka. Luk: 12:32

Nze musumba omulungi. Manyi endiga zange era nazo zzimanyi. Kitange ammanyi era nange mumanyi. Ndimwetegefu okuwaayo obulamu bwange olwendiga. Zintegeere era zimanyi eddoboozi lyange nange nzimanyi amanya gaazo buli emu kuzo. Zingoberera era nziwa obulamu obutagwawo. Tewali nomu ayinza kuzitta oba okuzinzibako. Kitange eyazimpa asinga obwakabaka bwona era teri amusinza buyinza. Wadde esinga obunafu muzo tewali ayinza kugisikula mumukono gwange. Era waliwo endiga zange nyinji ezitanaba kujja mukisibo, ntenkwa okuzikunganya. Manyi nga zirisanyuka bweziriwulira eddoboozi lyange zigenda kujja zeyunge kukiraalo kyange nsobole okuzirabirira wamu. Yok 10:14,15,27-29.

Omusumba w'endiga ayingirira mumulyango gw'ekisibo. Agulawo oluggi era endiga ziwulira eddoboozilye. Azikowola ng'akozesa amanya gaazo era nazitwaala mu ddundiro lwomuddo omuto. Agoberera endiga naziriisa. Era nazo zimugoberera nazizaamu amaanyi olwebigambo byayogera. Omubbi tezimukiriza zidduka buddusi. 10:25.

Nze Musumba omulungi awayo obulamu bwe olwendiga ze. Omusumba omupangise simutufu, tayinza kulabirira ndiga bulungi kubanga sizize. Bwalaba omusege adduka buddusi ngayabulira endiga ng'o musege gwerira. Endala nga zisasaana Yk 10:11-12.

Nze mulyango gwekiraalo. Bwotoyingirira mumulyango ogwo ng'oli mubbi era omunyazi. Bangi befuula abasumba nga sinagya naye endiga tezabategeera era tezabagoberera. Muyingirire mumulyango gwange mujja kuba neddembe era mujja kukkusibwa Yok 10:7,1,8,9.

Ensi eno ejjude obukuusa nokulya enguzzi nokufa. Naye nzinze okugyawo ebyobyonna. Njagala mutegeere obulamu obulungi obwanamaddala bwebufanana mbawe ne mikisa Yok 10:10.

EMMERE EY'OMWOYO

Kyawandikibwa nti omuntu tabeerenga mulamu nammere yokka naye era nekigambo ekiva eri Katonda Mat 4:4, Ekyamateeka 8:3.

Nze mmere ey'obulamu. Singa mujja gyendi temugenda kuddayo kulumwa njala y'omwoyo. Era bwemunanzikiriza temugenda kuddayo kulumwa nyoonta y'omwoyo. Mwefunire emmere ey'obulamu eyo muggulu, mulibeera balamu emirembe gyonna. Emmere gyembawa bwebulamu bwange, mbuwayo olw'ensi musanyuke ngamulya emmere eno mufune obulamu obw'omwoyo muleme okufa Yok: 6:35, 48 - 51.

Mumala amaanyi gammwe nga mulya emmere eggwawo, mukifo kyokulya eyemirembe ne mirembe. Nze eno emmere ey'omwoyo gyembawa kubanga kitange ampadde obuyinza  Yok 6:27.

Mukimanyi bulungi nti bajjajjamwe abaali muddungu baalya emmaanu. Abo baafa, Musa teyasobola kubawa mmere eva muggulu Kitange gyabawa. Emmere eyo ya Katonda eri omwana ava muggulu n'awaayo obulamu bwe kulwensi Yok 6:49,32,33.

Senga mukitegeera ekirabo Katonda kyabawadde mwandikitegedde nti mbawa n'amazzi ag'obulamu. Anywa gano amazzi agabulijjo alumwa ennyonta buli kisera, naye buli anywa kumazzi ge ndi muwa  agya kubanga avumbudde ensulo ekulukuta n'obulamu obutaggwawo. Yok 4:10,13,14. 

Mulina ennyonta ey'omwoyo? Mujje gyendi munywe. Abo bonna abanzikiriza balifuna ensulo ezikulukuta okuva munda zaabwe kuba bwekityo bwekyawandikibwa Yok 7:37,38.

 

To have a copy of The Words in Lugandan sent directly to your computer, please enter your e-mail address then press the "Send" button.

E-mail:


It is available in pdf format.
Adobe Acrobat Reader is required to view these files.
You can download a free copy here.

The size of the pdf version is 109k and will
take about 2 minutes with a 28.8 modem.

Your name will not be added to any mailing lists.

 


 

 
Send a friend an email telling them about The Words Site:

Friend's Name:   Friend's Email:   Your Name:  

Home | About Us |

THE WORDS IS COPYRIGHT-FREE. Permission to duplicate The Words applies to all audio
narrations and/or video on this site. Site Design Copyright ©2003 The Words, all rights reserved.
Site design by Prime Web Design