EKIZIBU
KYE DDINI
Download
The Words
to your computer
Mwegendereze
nyo eddini, obulamu bwamwe buleme kufugibwa eddini.
Mwerabidde
mu kaseera mpawekaaga emigaati ettaano egyalibwa abantu enkumi ettaano
newafikawo ebisero kumi nabibiri ebyobukunkumuka. Temukyajukira emigaati
omusanvu egyalibwa abantu enkumi enya newafikawo obukunkumuka enfafa.
Wewawo mbajukiza kubyemigaati naye sikyekikulu naye njagala okubalabula
okwegendereza ebigambo ebyobulimba nengigiriza enkyamu eri abo abenonyeza
ebyabwe nga bayita muddini Mak. 8:18-21.
Banaddini
basinza mubunanfusi nga bayigiriza empisa ezaabwe kulwabwe. Befunyiridde
kukola ebyobuwangwa nebilala mukifo ky'okuyigiriza amateeka gange. Mak
7:7-9.
Mwegendereze
abasomesa abambadde amaliba gendiga ngamunda mubo emisege emikambwe.
Omukulembeze wabwe owanamaddala ye Setaani era bakola byayagala. Okuva
kutandikwa Setaani mutemu era tayogera mazima. Ye mulimba era yekitaawe
wobulimba eyo yempisa ye. Mat 7:15 ne Yok 8:44.
Eri
abanyazi abetaddewo okuba abalamuzi mbagamba bwenti, omusango gumaze
okubasinga. Mwe abakulembeze bamaddini bananfusi muggalawo enzigi zobwakabaka
bwomuggulu eri abo abagala okuyingira. Temuyingire mwemwenyini ate nemuteekera
emisanvu abagala okuyingira muggulu.
Munyaga
banamwandu nga mwefuula ababaw'emikisa nokubasabira essaala empanvu.
Mulabye kubanga mulisikira bikolimo.
Mutambula
nga muddiringana eruyi ne ruyi nga muwayo omuntu owokulokola ate mumufuna
nemumufula mubinyo okusinga bwabadde.
Mubulira
nti yeekaalu siyamugaso nti ekisinga obukulu lyegwanika lye yeekaalu.
Kiki
ekisisnga obukulu zaabu eri mugwanika oba egwanika eritukuza zaabu?
Era
mugambe nti wolutaali siyamugaso naye ekirabo ekigiriko kyekyomugaso.
Muli
basiru, era bamuzibe, kiki ekisinga kinaakyo, ekirabo ekiri ku wolutaali
oba wolutaali etukuza ekirabo?
Oyo
asaamu ekitiibwa wolutaali, asaamu ekitiibwa nekigiriko. Oyo asaamu ekitiibwa
yeekaalu era asaamu ekitibwa abeera munda muyo. Oyo asaamu ekitibwa eggulu
asaamu ekitiibwa Namulondo ya Katonda noyo agitulako.
Mwe
banafunsi muwa ekitundu eky'ekumi ekya Nabbugira ne Aneta ne kkumino ebimera
mumaaso g'enju zammwe mukiseera kyekimu nemwerabira ebisinga obukulu ebiri
mu mateeka nga omusango, okusaasira, okukiriza n'ebintu ebirala ebibakwatako.
Temulengera
wala. Mujja akawuka akatono mu mubisi naye munyweramu ensowera. Ne munaaza
kukungulu kubikopo ne kubibya songa munda mulesemu ekko nobukyafu. Kitalo!
musooke okugyawo obukyafu munda ebweru nayo ejja kulongoka.
Mwe
abasomesa abalimba, mubunanfusi bwamwe mulinganga amalalo agasiigiddwa
langi kungulu naye nga munda gajudde ekivundu kyabafu. Abantu babawana
olweneyisa yamwe songa munda mummwe muli bananfusi. Muyinza mutya okuba
nokukiriza Katonda nga munonya kusimibwa bantu naye siye? Mat. 23:13 -
28.
Muzimba
amalaato gabanabbi nemuteeka ebimuli ku malaalo gabatukirivu nga bwemugamba
nti senga twaliwo tetwandikiriza kuyiwa musaayi gwabwe. Temumanyi nti
muba mwewaako obujulizi ngabwemuli abaana baabo abatta banabbi ate nebikolwa
byammwe bisinga obubi ebyaabwe.
Mwe
emisota emikambwe egyebiro bino mulowooza nti muyinza okwewala Geyena?
Mukitegere ngenda kubatumira banabbi nabagezigezi, nabasomesa, abamu mulibatta,
mulibakomerera, nabalala mulibakuba nga mubabonyabonya okuva mubibuga.
Mat 23:29 - 34.
Obunanfusi
obwekika ekyo Isaaya yabwogerako ngagamba nti abantu bano bagya gyendi
ngabanzisamu ekitibwa ekyokumimwa songa emitima gyaabwe gindiwala Mat
17:7 - 8.
Mwegulumiriza
mumaaso gabantu songa katonda amanyi emitima gyammwe. Temumanyi nti obutukuvu
obusimibwa abantu tebusanyusa mumaaso gakatonda Lk 16:15.
Mwegendereze
nnyo kubanga abantu baliva ebuvanjuba nebugwanjuba nebatuula ne Ibulayimu,
Isaaka, ne Yakubo mubwakabaka bwa Katonda naye mmwe abalowooza okuyingira
nemugobebwa ebweru okugyako nga obutukirivu bwamwe businga obwa banaddini,
temuliyingira na katono Mat 8:11,12 and 5:20.
OMUSANA
OGUMULISA ENSI
Nzize
okuba omusana eri ensi, buli muntu anzikiriza tagenda kusigala mukizikiza.
Nze ndi musana ogumulisa ensi. Abagoberezi bange bonna tebaliddayo kutambulira
mu nzikiza naye bajja kuberanga mumusana Yok. 12:46 ne 8:12.
Ekigezo
kikino - omusana ogwenkanidde awo guzze munsi naye abagirimu baagala kizikiza
okusinga omusana kubanga ebikolwa byabwe byakwemanya nomululu. Abo abawaddeyo
obulamu babwe olwekibi tebagala musana namazima, batya nti ebikolwa byabwe
bijja kulabibwa banenyezebwe. Naye abo abaagala amazima tebatya musana
kubanga bagala abikolwa byabwe bilabibwe basanyuse Katonda Yok 3:19 -
21.
Lumu
wagenda mu Ddungu okulaba Nabbi - Yokana omubatiza yakulaga ekituufu.
Yali muliro era ettaala eyaka. Walabika nti wasanyukira mu musana ogwo
naye akaseera katono. Naye nina omujulizi asinga Yokaana. Omulimu gwakitange
gwampadde okumaliriza era gwenkola gukakasa nti yetantuma.
Singa
mbadde sikola mulimu gwakitange mwandibadde baddembe obutanzikiriza naye
oba nkola emirimugye nebwemuba temunzikiriza mukirize emirimu gyenkola.
Awo nno mugya kumanya era mukirize nti kitange ali munze. Kubanga byonna
byemukola mukyama bijja kulabika mulwaatu. Nebyo ebikoleddwa bigenda kuzulibwa.
Kye mbategeeza kakati mukyama kigenda kwogerebwa mulwaatu era Omwoyo kyayogera
mu kaama kigenda kwanjulwa Kunyumba waggulu. Luk 8:16 Mat 5:14 - 16, Lk
8:17 Mat 10:27.
Ettaala
yomubiri lye liiso. Eliiso
lyo bweliba eddamu, obulamu bwo bwonna bujjulla ekitangaala.
Naye eliiso lyo bwe liba lijudde obubi, obulamu bwo bwonna buba,
bujudde ekizikiza. Bwekityo
bwekiba nti ekizikiza. Kikujuddekyamutawaana
nyo. Mat 6:22,23
Olunaku
telukina ssaawa kkumi na bbiri ezemisana?
Bwotambula emisana tewesittala olwekitangaala nayoe bwotambula
ekin wesaanga ogude, kubanga tolaba.
Mutambule ngòmusana gukyayaka kuganga ne'kiro kiri kumpi.
Abatembulira kizikiza muzibe.
Omuzibe bwakulembera muzibe munne bonna babula. Yoh 11:9-10 ne
12:35.
Tiyinza
kukoleza ttoala nogibikako kibbo oba nogiteeka wansi wekitanda naye ogiteka
waggulu kummeeza exxobole okumulisa abo abali munju.
Era
toyinza kukoleeza ttaalanogiteeka mukisero maye ogiteeka waggulu wa kameaaza
esobole kwakira buli muntu.
Temukimanyi
nti mwe muli musana gwansi? Mulinganga ekibuga ekizimbiddwa kulusozi ekitayinza
kwekisa. Omusana gwammwe
gwakenga bwegutyo én'abantu balabe ebikolwa byammwe ebitungi balyoke batundereze
kitammwe ali mugulu. Buli
kyemukola kyomma munkweko kino bikulibwanga era nelyo ekiri mukyaama olunaku
lunu kiri lagibwa mulwaatu.
Kyembabulira
kakati mukyaana mukyatulenga mulujudde era buli omwoyo kyanayogeranga
gyemuli mukaama mukyogerere waggulu. Luk 8:16 ne Mat 5:14
OKUBIKKULIRWA
Ekiseera
kijja omwana w'omuntu lwa lirabisibwa era nawebwa ekitibwa Yok: 12:23
Sijja
kulwange nganoonya kitiibwa naye waliwo ayagala ngulumizibwe era yalisalira
omusango abatanjagala Yok: 8:50.
Mumateeka
agawandiikiddwa abantu gagamba nti obujulizi obwabantu ababiri obufanagana
buba butuufu. Nze nawaako obujulizi ne kitange eyantuma abukakasa. Nkimanyi
nti obujulizi bwampaako butuufu era nolwekyo setaaga bujulizi bwababntu
Yok: 8:17, 18 Yok: 5:32, 24.
Oyo
eyeyogerako yekka akikola lwakwagala kwegulumiza naye oyo akola olwobutukirivu
ne kitiibwa kyooyo eyamutuma mutuufu era temuli bulimba muye. Yok 1:18.
Sizze
kulwanga naye ntumiddwa oyo owamazima. Sivudde muggulu kukola byange naye
ebyoyo Kitaffe byayagala. Nazaalibwa nenzija munsi eno olwensonga eyo
okuba omujulizi omulamu era owamazima. Abo abagala amazima bangoberere
Yok 7:28, 6:38, 18:37
Nze
ne kitange tuli bumu mulinya lye mwenzijidde. Nzize mube nobulamu era
mube nabwo mubujuvu. Yok 10:30, 10:10, 9.
Obuyinza
bumpereddwa Muggulu ne Kunsi. Nze mbawa obulamu obutaggwawo, nebisumuluzo
byobwakabaka obwomugulu era namaanyi agasinga agomulabe. N'olwekyo omutima
gwo tegusagasagananga era totya emirembe mbawa egisinga ensi eno gyembawa.
Bwemumanya amazima, galibafuula abeddembe. Omwana wakatonda bwakusumulula
ogenda okuba ne mirembe egyanamaddala. Kino nkyogedde mubere nokukiriza
mulyoke mukyusibwe Yok 10:28, 14:27, 8:32,36, 15:11.
Katonda
eyantuma asiima kino nti buli atunuulira omwana namukiriza afuna obulamu
obutaggwawo. Buli anzikiriza ndimuzuukiriza kulunaku olwenkomerero. Mukirize
omwana wa katonda y'oyo ayogera gyemuli. Yok 6:40, 9:35, 37.
EKIGAMBO
EKIRAMU
Kitange
eyantuma andagidde ebyokubagamba.
Manyi nti ebigambo bye bituusa omuntu mubulamu obutaggwawo. Buli
kyandagidde okwogera, kyenjogera. Yok: 12:49, 50
Ebigambo
bino byenjogera sibyange biva eri Kitange eyantuma. Abo abawulira byenjogera
nebakkiriza oyo eyantuma baliba nobulamu obutaggwawo. Tebalinenyezebwa
naye baliva mukufa ne bafuna obulamu Yok 14:24, 5:24.
Muwulirize,
ekiseera kijja ate era kituuse abafu lwebaliwulira eddoboozi ly'omwana
wa Katonda era buli aliriwulira aliba mulamu Yok 5:25.
Munonyereza
ebiwandiiko byobunabbi obwedda mbu mufune obulamu obutaggwawo ate nga
mbyogerako naye temwagala kujja gyendi mufune obulamu bwemunoonya Yok
5:39, 40.
Wadde
temumulaba mubuntu ate era tayogera nammwe muddoboozi ly'omwanguka kitange
yeyogerako. Olw'obutakiriza nze Kitange gweyatuma muba mugaanye okuwulira
eddoboozi lya Katonda y'enyini Yok 5:37,38.
Nze
ne kitange tuli omuntu omu, Nzize mulinnya lye okubawa obulamu, mufune
mu bujjuvu. Yok 10:30; 10:10,9
Mpereddwa
obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi mbawa obulamu obutaggwaawo n'ebisumuluzo
byo bwakabaka
obwo mu ggulu namaanyi agawangula amaanyi go mulabe kale emitima gyammwe
gyeraliikira, mbawa
emirembe gyange, emirembe egisinga okutegeerwa ansi gye tasobola kuwa.
Mulitegeera amazima, era amazima gali bafula abe ddembe, singa
omwana wa katonda abasumulula, muliba ba ddembe ddala.
Mbabulira bino mubeere no ku kkiriza, era mukyusibwe.
Yok 10:28; 14:27; 8:32,36; 15:11
Kuno
kwagala kwa katonda eyantuma nti buli anzikkiriza allifuna obulamu obutaggwaawo,
ate bwe mu nzikkiriza ndi bazuukiza kulunaku olwe nkomerero. Naye mukkiriza
omwana wa Katonda? Ye wuuyo
ayogera nammwe. Yok 6:40;
9:35, 37.
KITAMMWE
Yesu
Kristo mumulowoozako ki? Mwana wani? Mat 22:42
Tewali
amanyi mutabani wa katonda okujjako kitaawe ali muggulu. Era tewali
ayinza kumanya kitaawe okujjako omwana oyo gw'amulaze. Neguno gujwa
temumanyi nga nze kyenvudde nzijja ngantumiddwa gyemuli okuva gyali
Mat.11:27.
Oyo
antumye aliwano nange kakati. Tandeka nzeka kubanga buli kyenkola kimusanyusa.
Kambategeze nti bwemulaba nze muba mulabye ye. Lwaki mumbuza nti mbamulage
ye. Temukiriza nti tuli kimu nekitange nekitange tuli bumu naye. Lk
18:2-8. Buli kitange kyalina kyange.
Nvudde eri kitange nenzija munsi era ngenda kuddayo nate ewa
kitange Yok 8:29. Tewali mwana kyayinza kola kululwe naye akola ebyo
kitaawe byakola era kitaawe amwagala. Kyenvudde mbalaga ebyama byonna
era mujja kulaba ebyamagero ebisinga nebyo bwemwali mulabyeeko.
Nga
kitange bwazukiza abafu nabawa obulamu nomwana bwatyo aliwa obulamu
oyo yenna gwayagala. Yok.5:19 - 21.
Nokusala
emisango sisala kulwange. Nsala okusinzira kukatonda kyayagala. Nga kitange
bwalina obuyinza okuwa obulamu nomwana alina ekirabo ekyo era awereddwa
obuyinza okusala emisango kubanga ye Kristo omwana w'omuntu. Yok 5:19,
26, 27, 30.
Ebigambo
bino nabyogera okuvira ddala kutandiikwa. Bingi mubulamu bwammwe ebisalirwa
emisango naye nzize nobubaka obw'enjawulo obumpereddwa oyo owamazima.
Buno bwebubaka bwembulira ensi Yok.8:25, 26.
Kunkomerero
nga mumaze okukomerera omwana w'omuntu mulitegeera kyali, nemumanya nti
tewali kyenakola kulwange naye nga buli kimu kyava eri Kitange eyantuma
okubyogera. Yok 8:28.
OMUSUMBA
OMULUNGI
Temutya
edinga zange. Ssanyu lyakitammwe okubawa obwakabaka. Luk: 12:32
Nze
musumba omulungi. Manyi endiga zange era nazo zzimanyi. Kitange ammanyi
era nange mumanyi. Ndimwetegefu okuwaayo obulamu bwange olwendiga. Zintegeere
era zimanyi eddoboozi lyange nange nzimanyi amanya gaazo buli emu kuzo.
Zingoberera era nziwa obulamu obutagwawo. Tewali nomu ayinza kuzitta oba
okuzinzibako. Kitange eyazimpa asinga obwakabaka bwona era teri amusinza
buyinza. Wadde esinga obunafu muzo tewali ayinza kugisikula mumukono gwange.
Era waliwo endiga zange nyinji ezitanaba kujja mukisibo, ntenkwa okuzikunganya.
Manyi nga zirisanyuka bweziriwulira eddoboozi lyange zigenda kujja zeyunge
kukiraalo kyange nsobole okuzirabirira wamu. Yok 10:14,15,27-29.
Omusumba
w'endiga ayingirira mumulyango gw'ekisibo. Agulawo oluggi era endiga ziwulira
eddoboozilye. Azikowola ng'akozesa amanya gaazo era nazitwaala mu ddundiro
lwomuddo omuto. Agoberera endiga naziriisa. Era nazo zimugoberera nazizaamu
amaanyi olwebigambo byayogera. Omubbi tezimukiriza zidduka buddusi. 10:25.
Nze
Musumba omulungi awayo obulamu bwe olwendiga ze. Omusumba omupangise simutufu,
tayinza kulabirira ndiga bulungi kubanga sizize. Bwalaba omusege adduka
buddusi ngayabulira endiga ng'o musege gwerira. Endala nga zisasaana Yk
10:11-12.
Nze
mulyango gwekiraalo. Bwotoyingirira mumulyango ogwo ng'oli mubbi era omunyazi.
Bangi befuula abasumba nga sinagya naye endiga tezabategeera era tezabagoberera.
Muyingirire mumulyango gwange mujja kuba neddembe era mujja kukkusibwa
Yok 10:7,1,8,9.
Ensi
eno ejjude obukuusa nokulya enguzzi nokufa. Naye nzinze okugyawo ebyobyonna.
Njagala mutegeere obulamu obulungi obwanamaddala bwebufanana mbawe ne
mikisa Yok 10:10.
EMMERE
EY'OMWOYO
Kyawandikibwa nti omuntu
tabeerenga mulamu nammere yokka naye era nekigambo ekiva eri Katonda Mat
4:4, Ekyamateeka 8:3.
Nze
mmere ey'obulamu. Singa mujja gyendi temugenda kuddayo kulumwa njala y'omwoyo.
Era bwemunanzikiriza temugenda kuddayo kulumwa nyoonta y'omwoyo. Mwefunire
emmere ey'obulamu eyo muggulu, mulibeera balamu emirembe gyonna. Emmere
gyembawa bwebulamu bwange, mbuwayo olw'ensi musanyuke ngamulya emmere
eno mufune obulamu obw'omwoyo muleme okufa Yok: 6:35, 48 - 51.
Mumala
amaanyi gammwe nga mulya emmere eggwawo, mukifo kyokulya eyemirembe ne
mirembe. Nze eno emmere ey'omwoyo gyembawa kubanga kitange ampadde obuyinza
Yok 6:27.
Mukimanyi
bulungi nti bajjajjamwe abaali muddungu baalya emmaanu. Abo baafa, Musa
teyasobola kubawa mmere eva muggulu Kitange gyabawa. Emmere eyo ya Katonda
eri omwana ava muggulu n'awaayo obulamu bwe kulwensi Yok 6:49,32,33.
Senga
mukitegeera ekirabo Katonda kyabawadde mwandikitegedde nti mbawa n'amazzi
ag'obulamu. Anywa gano amazzi agabulijjo alumwa ennyonta buli kisera,
naye buli anywa kumazzi ge ndi muwa
agya kubanga avumbudde ensulo ekulukuta n'obulamu obutaggwawo.
Yok 4:10,13,14.
Mulina
ennyonta ey'omwoyo? Mujje gyendi munywe. Abo bonna abanzikiriza balifuna
ensulo ezikulukuta okuva munda zaabwe kuba bwekityo bwekyawandikibwa Yok
7:37,38.
|