
OBWAKABAKA OBW'OMUGGULU
Okuvira ddala mukiseera
kya Yokana omubatiza okutuusa kakati obwakabaka obw'omuggulu bweyongedde
nekawefube era abantu bangi bafunye amazima gaabwo Mat 11:12
Obwakabaka
obwomugulu bugerageranyizibwa ku nnimiro ey'e__aano
omulimi gyeyasimba mu ensigo ennungi. Olunaku lumu omulimi ngayebase,
omulabe we yajja nasiga mu nnimiro yemu ensingo ez'omuddo neyeviraawo.
E__aano bwe yatandika okumera, n'omuddo guli nagwo negumera. Bwebabiraba
byombi, abapakasi nebagenda eri nanyini nnimiro nebamugamba mumaloboozi
agakawoowo nti tetwasimba nsingo nuungi munnimiro yo naye ate lwaku
mulimu omuddo omukyaamu.
Omulimi
naddamu nti oyo mulabe y'eyakikoze.
Nebamuddamu
nti tugezeeko okugugyamu?.
Omulimi
naddamu nti nedda, osanga bwemunaaba mugyamu omuddo mugya kugiramu n'__aano.
Mubireke bikulire wamu okutuusa amakungula awo nno mulikula e__aano
yokka no muddo ogwo gwoka, mulisiba emiganda buli ki nakimu. Omuddo
gulyokyebwa no ne__aano eritekebwa
mu materekero.
Oyo
eyasimba ennungi ye mwana w'omuntu, ennimiro y'ensi, ensigo ennungi
bebaana abo bwakabaka omuddo b'ebo abalimbibwa setaani omulabe. Amakuungula
y'enkomerero yensi era abakunguzi be bebamalayika. Ng'omuddo omubi bwegukunganyizibwa
negwokebwa, bwekiriba bwekityo kunkomerero y'ensi. Omwana womuntu alituma
bamalayika be, balikunganya buli kimu ekifudde ensi eno okuba embi naabo
abatakwata mateeka era ali basuula mukifo ekyokukaaba mukulumwa obujiji.
Naye abatukirivu balyakayakana ng'enjuba mubwakabaka bwa Kitaabwe. Oba
mulina amatu agawulira muwulire.
Mat
13:37-43
Buli
bwa Kabaka obweyawuddemu buli mukabi na buli kibuga oba enyumba ebitali
bumu bigenda kugwa. Bwekityo bwekiri Sitaani bwalwanyisa sitaani aba
y'eyawuddemu yekka mukuloowoza obwakabaka bwe buli wangaala butya?
Omuntu tayinza kujja kusitaani kintu okugyako nga'maze okusiba sitaani.
Nze oba nsobola okugoba emizimu n'okukola ebyamagero ngankozesa amaanyi
ga sitaani, mwe abaana bamwe bakozesa maanyi gangeriki? Bagenda kuba
balamuzi bamwe. Ekyo ekibuuzo abaana bammwe basobola okukiddamu. Naye
oba nze nabaana bammwe tugoba emizimu ngatukozesa amaanyi ga Katonda
kitegeza nti mufunye obwakabaka bwakatonda Mat 12:25 - 29.
Mwali
musomyeko kukyawandiikibwa ekigamba nti Ejjinja abazimbi lyebagaana
lyafuuka ery'okusonda. Eno yenkola ya katonda eyewuunyisa. Mulabe obwakabaka
bwa katonda mwe abawuliriza n'emutabaako kyemukola n'ebiwebwa abo ababala
ebibala Mat 21:42,43.
Mwegendereze
nyo obubaka buno. Ebibi byonna bisoboka okusonyiibwa nobuvvoozi bwona
naye eri abo abalowooza nti okukola obubi kulungi nokukola obulungi
kibi, Abavoola omwoyo tekisoboka kusonyiibwa. Obwonoonyi obwekika kino
tebugwaawo. Mwegendereze ebigambo bino kubanga abantu ababi nabakazi
abetunda bayingira dda mubwakabaka ng'atemunaba. Baawulira okuyitibwa
okw'obulamu era nebadda eri Katonda naye ab'emputu baawulidde okuyitiibwa
n'ebagaana mu bugenderevu Mak 3: 28, 29.
Temulowooza
nti okugamba nti Mukama wange, mukama wange muliyingira mubwakabaka
bwa Katonda okugyako nga mukoze Kitange by'ayagala. Mat 7:21
Mulowooze
omuntu okugenda ewa nagagga ekiro nga yeebase. Omuntu oyo agobwa bugobwa
bwakonkona kuluggi.
Nagagga
amugamba nti sikumanyi nebwagezaako okunyonyola nti nze ey'alyanga naawe
mubirabo by'emmere, netubuliira ffenna munguudo nze gw'ogoba. Amuddamu
namugamba nti nze sikumanyi ndekera emirembe.
Kulunaku
olw'enkomerero bangi baligamba nti mukama waffe, twalagula mulinya lyo,
netugoba n'emizimu mulinya lyo netukola n'ebyamagero bingi mulinya lyo,
naye nze ngenda kubaddamu nti muve wendi sibamanyangako nakamu. Obulamu
bwamwe mwabumalira mukwonoona Luk 13:25-27.
Mbayigiriza
n'engero zino mwe muwereddwa okumanya ebyaama ebyobwakabaka obwomuggulu.
Ate
kambaweeyo olugero olulala olukwata kubwakabaka obw'omuggulu.
Waliwo
omusuubuzi omututumufu eyali ategeka okugenda mu lugendo oluwanvu. Naye
ngatanagenda yayita mikwano gye basatu nabawa obuyinza kuby'obugagga
bwe. Omu yamuwa emiganda ettaano omulala emiganda ebiri, omulala omuganda
gumu buli omu namuwa obuyinza okukozesa emigendo egyo okusinzira kubusobozi
bwabwe. Oyo eyaweebwa emuganda ettaano yatandika okugula nokutunda era
nafuna amagoba gamirundi ebiri, owokubiri naye nakola bwatyo yateeka
emiganda mu byamaguzi nafuna emirundi ebiri. Naye
owokusatu yatya. Yateeka omuganda gwe mu sanduuko nagiziika muttaka.
Yaguteeka muttaka ng'atya nti bayinza okugubba.
Bwewayitawo
ekiseera nanyini miganda nakomawo.
Nayita
mikwano gye gino okubabuza engeri gy'ebakozesaamu sente ze. Owemiganda
ettaano y'eyasoka n'anyonyola engeri gyeyakozesa sente nafuna emiganda
kumi. Amangwago omugagga nagamba nti okoze bulungi. Obadde mwesigwa
mu bitono njakukwasa n'ebisingawo. Okutandika nekaakati tandika okuba
n'obuvunanyizibwa.
Nayita
owokubiri naye namugamba nti wampa emiganda ebiri naye nina ena. Naye
namwebaza nti obadde mwesigwa mubitono naye njakuteka mubuvunanyizibwa
obw'ebingi genda mumaaso nebirala.
Nowokusatu
naye najja nagamba omugagga nti mbadde manyi nti oli musajja mubi okungaanya
amagoba g'abantu abalala era nakimanya nti oyagala kunfuna mu magoba.
Kyenakola kwe kutereka omuganda gw'esente zo muttaka okuntusa lw'olidda.
Omugagga
naddamu nti omusajja oyo musirusiru oba wamanya nti eyo y'enkola yange
lwaki tewateeka sente mu Banka n'ezizaala. Oba bwotyo bwewakola omuganda
gukugibweeko guweebwe munno eyasooka gwe obonebone ate wejjuse.
Mubwakabaka
obwomuggulu abo abakozesa byebalina newankubadde bitono bitya bajja
kweyongeranga okufuna babe nabingi. Naye abo abatya okukozesa abatali
abatalina bwesigwa bagenda kufiirwa byonna byebalina Mat 25:14 - 30.
Olugero
olulala lwe lw'omuntu omutaka. Omuntu ono yagenda napangisa abakozi
ab'omunimiro y'emizabibu. Yabazuula abasobola, nebategeregana kumuwendo
buli lunaku. Nebatandika okukola. Oluvanyuma nga kusaawa satu yalaba
abalala abatalina kyebakola nabagamba bagende nabo bakole nti ajja kubasasula
empeera nungi.
Ku
ssaawa mwenda yalaba abalala nabo nabagamba basenda bakole munnimiro.
Kussawa kumi nemu naddayo mukibuga nasanga abasajja abalala nabo nabagamba
kyekimu.
Akawungenzi
bwekatuuka nagamba Nampala nti yita abakozi mbasasule empeera yabwe
ngantandikiira ku b'oluvannyuma okutuuka ku basoose.
Aboluvannyuma
yabawa esente emu emu. Bali abasooka nebalowooza nti ajja kubawa
nyingi okusinga aboluvannyuma.
Abo
abatandika olweggulo bwebajja nabo nebafuna esente emu emu. Bwebakiraba
abatandiika kumakya n'ebalowooza nti balina okubawa nyingi okusingawo.
Naye bwebajja okusasulwa bafuna emu emu. Amangwago nebatandika okukayana
nga bagamba nti kisoboka kitya ffe okusasulwa esente zezimu naabo abatandiise
oluvannyuma? Ffe tukoze omulimu ogusinga obunene ate mumusana. Omulimisa
nagamba nti nze sirina kikyamu ky'enkonze, twategeraganye namwe nti
nja kubawa sente emu olunaku lwonna. N'ababuuza nti sikyo? Mutwale sente
yammwe. Nze nsazeewo naabo abatandise oluvanyuma okubawa sente z'ezimu
namwe, nze nina obuyinza okukozesa sente zange nga bwenjagala. Mukwatibbwa
obugoya kubanga nkoledde bali ekisa? Olugero luno nalwo lukwata ku bwa
Kabaka obw'omuggulu. Mbategeeza nti owoluberyeberye aliba waluvanyuma,
n'owoluvanyuma aliba owoluberyeberye. Bangi bayitiddwa naye batono abalondemu
Mat 20: 1 - 16.
Obwakabaka
obwo muggulu bulinganga ekyobugagga ekyazikibwa munnimiro, olumu omuntu
yakivumbula nakikweeka munnimiro. Natunda byonna byeyalina nagula ennimiro
eyo Mat 13: 44 - 45.
Abo
abayingira mubwakaba tebakiriza byansi eno kubaziyiza nga omugagga oli
eyatunda byona olwekyobugagga ekyali munnimiro. Obulamu bwabwe bwona
babuwaddeyo olwekyobugagga ekyo ekyobulamu, endowooza empya nolwessuubi
elyobulamu buno nobwo obugenda okujja Mat 13:44.
Obwakabaka
bwa Katonda bugenda mumaaso okusinzira kuntegeka ya Katonda. Omulimi
asiga ensigo munnimiro bwamala agenda nawummula, buli lunaku olukya
ayimuka nakola okutuusa okawungezi. Naye zo ensigo zigenda mumaaso nokumera.
Engeri gyezimeramu tewali agitegeera, omulamwa gwa kasooli guvaayo oluvanyuma
olaba omunwe gwa kasooli, oluvanyuma omulimi atandika okukungula.
Mak
4: 26 - 29
Obwakabaka
obwomuggulu bulinganga akaweke ka kaliddaali akasimbiddwa munnimiro.
Wadde nga katononyo kakula nekavaamu ekimera ekinene, ekiwanvu ekyomuti.
Enyonyi mwezeyagalira neziwumula. Bulinganga ekizimbulukusa ekitono
ekikola omugaati. Wadde nga bitabuddwa mu__aano enyingi kizimbulukusa
omugati gwonna Mat 13: 31 - 33.
Ekisembayo
obwa Kabaka obwomuggulu bugerageranyizibwa ku katimba ko muvubi akanyikiddwa
mumazzi ne kakwata ebyennyanja. Bwekajjula omuvubi akasika nakazza ku
lubalama. Awo we baku__aanyiza ebyenyanja ebingi nebabiteka mu kisero,
ebibi nebabisuula. Bwekityo bwekiriba ku nkomerero yensi. Bamalayika
baliyawulamu abantu ababi okuva mubaana bakatonda nebabasula mumuliro
omuliba okulumwa nokulaba ennaku Mat 13:47-50.
Nabatuma
mutwalire abantu emikisa awatali blrungi byansi nga sente, oba obuyambi.
Naye mulina ekyababulako? Temweraliikiranga byankya kubanga ebyo bijja
kwekolako byokka, mmanyi nga bingi byemulina okukola buli lunaku era
bimala, temusanidde kulowooza byankya. Kummwena ani ayinza okwongeza
ku buwanvu bwe olwokukola emizanyo. Luk 22:35 Mat 6:34, 27.
Mulabe
ebinyonyi mubbanga, tebyeraliikirira, tebilwaawo kwebaka nga birowooza
kubyenkya. Kitamwe ali muggulu abitegekera ebyokulya. Mwe temusinga
binyonyi ebyo? Mat 6:26.
Lwaki
mweraliikirira kye munayambala, mulabe ebimuli ebyomunnimiro. Byekuza
byokka nekabaka Sulemani eyalina ekitibwa ekiingi teyayambalako kwefananyiriza
bimuli ebyo. Obanga Katonda asobola okunyiriza ebimuli bwatyo ebikala
nebyokebwa naye ate mmwe lwaki muba nokukiriza okutono?
Nolwekyo
mulekerawo okwogera nti tunalyaki, tunanywaki, tunayambalaki. Ebyo byogerwa
abo abatakiriza. Muwumule mumwoyo. Kitammwe ali muggulu amanyi bulungi
nti ebintu bino byonna mubyetaaga. Mulekerawo obutakiriza.
Naye
musooke munoonye obwakabaka obwomuggulu, nobutukirivu bwakatonda ebyetaago
byammwe byonna bigenda kumalibwawo Mat 6:28 - 33.
ETTEEKA
EKKULU
Etteeka
elisinga obukulu mumateka gonna lyelino nti oyagalanga mukama Katonda
nomutima gwo gwonna nemmeemeyo yonna, namagezi go gonna, namaanyigo gonna.
Mak 12:29 - 30.
Etteeka
eryokubiri lyelino nti oyagalanga muliraanwa wo
nga bweweyagala wekka. Mako 12:31 Lev 19:18.
Lino
lyetteka lyembawa mwagalanenga nganze bwenabagala. Tewali mateeka malala
gasinga ago obukulu. Tewali alina kwagala kusinga kw'oyo awaayo obulamubwe
kulwamikwanogye. Mako 12:31.
Oyo
akola ekirala okuva kumateeka gano tagenda kubalibwa nakatono mubwakabaka.
Naye oyo agatukiriza nayigiriza nabalala essanyu eriri mukugakola aliyitibwa
wa kitibwa mu bwakabaka bwo muggulu. Mbabulidde ebintu bino, essanyu
lyammwe libeere mubujuvu Mat 5:19, Yok 15:12, 13
Mubutufu
mwawulira abagambanti yagalanga muliranwawo okyaawe omulabewo, naye
kati mbagambanti mwagale balabe bammwe mubasabire emikisa abo ababakolimira,
mukole bulungi abo ababakyawa, mubasabire abo ababanyooma era ababayigganya.
Bwemunakola bwemutyo mujja kuyitibwa baana ba Katonda ali muggulu. Kubanga
y'omu ayasa omusana eri ababi nabalungi era yatoonyesa enkuba eri abatukirivu
nabatali. Bwe mwagala ababagala muba mukoze ki? Nababi bagala babi banaabwe.
Bwemukwatibwa ekisa mikwano gyamwe gyoka munafuna mpeera ki? Mat.5:43-47.
Mwagalanenga
nganze bwenabagala. Bwemunakola kino mujja kuba bayigiriza bange kubanga
okwagala kwamwe sikwa bukuusa. Temulimbibwanga, omuntu yenna bwaba nga
anjagala mumazima namwe muja kukiraba. Omuntu oyo obulamu bwe buja kuba
bwanjawulo, era aja kuweebwa omukisa aja kubeeranga wamu nekitange.
Bwemuwuliriza kyenjogera nemukikola muja kwagalibwa kitange era nange.
Tujja kujja tubeere mumitima gyamwe. Yok 13:34, 35. 14:23.
Kitange
abaagala kubanga munzikiriza era mukimanyi nti nava eri Katonda. Mweyongere
bwemutyo. Mukwate ebigambo byange muja kusigala nga mwagalibwa. Nze nkuuma
ebiragiro byakitange nensigala nga nkyayagalibwa. John 16:27, 15:9.
Omuntu
omu yatambula okuva mu Yerusalemi, okugenda e Yeriko. Bweyali nga atambula
n'agwa mubatemu, nebamwambula, nebamukuba nebamuleka nga abulako katono
okufa. Kabona yali atambula namulaba nasalawo okusala oluguudo namwebalama.
Akaseera
kayitawo katono munaddiini najja namutunulako navaawo mangu ago.
Ekyaddirira
omusamaliya eyali agayibwa naye najja. Bweyamulaba nakwatibwa ekisa, nayuza
ekizibawo kye nasiba ebiwundu bye, ngayiwako amafuta n'eddagala eritta
obuwuka. Namuteeka kundogoyi ye namutwala muddwaliro nabasaba bamujjanjabe.
Kumakya
ng'atanaddayo ka nagenda nasasula sente, endala nazisuubiza okuzireeta
nga akomyeewo. Muloowoza kubonsatule ani yali muliraanwa wooyo eyagwa
mubatemu?
Mugende
mukole nga oyo omusamaliya. Luk. 10:30 - 37.
|