Ebintu
byonna ebyawandikiibwa banabbi ngabifa ku Kristo bigenda kutukirira.
Aliweebwayo mubusibe eri abantu bensi, balimuduulira, bali mubonyabonya.
Balimukuba, era balimutta naye kulunaku olwokusatu alizuukira. Luk.
18:31 - 33
Ndikumpi
okuva munsi. Ekiseera kyammwe ekyokujja gye _enda tekinatuka. Tulye
ekijjulo ekyokuyitako ekisembayo ngasinatwalibwa kubonabona. Mbategeeza
amazima siriddayo kulya kuyitako okutuusa byonna ebikifaako lwe
birituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda. Era siriddayo kunywa
ku nvinyo okujjako ng'obwokatonda obwo muggulu bukomyewo.
Omugaati
guno gulaga omubiri gwange oguwereddwayo kulwammwe. Mugulye nga
munzijukira. Ekikopo kino ekyenvinyo kiraga endagaano yakotonda
eyobulokozi empya ng'enywezeddwa n'omusaayi gwange oguyiika kulwa
mmwe. Yok. 13:33
Nteekwa
okuwaayo obulamu bwange nga bwekyalangirirwa ba Nabbi, nga zimusanze
oyo alya mu mwana womuntu olukwe.
Kyandibadde
kirungi nyo singa teyazaalibwa, sitegeeze nti mwenna zibasanze kubanga
manyi bulungi abaange bennonze. Naye kyawandiikibwa nti oyo akoza
nange yalindyaamu olukwe. Mbabulira bino byonna nga tebinatuukirira
oluvanyuma musobole okunzikiriza. Mat. 26: 24, Yok. 13:18.
Mulowooza
nti musobola okuwaayo obulamu bwammwe kulwange? Kyannaku kubanga
mmwena mujja kunjabulira kulunaku lwendiribwaamu olukwe, nga banabbi
bwe bawandiika __enda kukuba omusumbawe endiga era zirisaasana.
Yok. 13:38, Mk. 14:27.
Taata,
wulira okusaba kwange. Oba kusiboka obuzito bunno obunjolekedde
buveewo, naye singa bwenjagali naye kyoyagala kikolwe. Mk. 14:36
Banange
essaawa etuuse omwana womuntu okuliibwaamu olukwe nokuweebwayo mumikono
gy’abononyi. Mwegendereze nnyo, abo abatta nekitala nabo balifa
nakittala.
Kisiboka
kitya okulyamu omwana womuntu olukwe nga omunywegera? Munkwata nga
omubbi, muzze nebitala nemiggo?
Buli
lunaku nali nammwe mu Yeekaalu temwankwata, naye kino kye kiseera
ekye kizikiza era eno yes saawa ya mmwe eye mirimu. Luk. 22:48,
52.
Temukimanyi
nti nyinza okusaba kitange naweereza bamalayika kumi nababiri neba
nkuuma?
Naye
olwokwagala ebyawandiikibwa bituukirire bino birina okubaawo. Omwana
womuntu agulumizibwa era ne Katonda agulumirizibwe muye. Yok. 13:31.
OKUGEZESEBWA
NO MUSALABA
Temulina
maanyi gonna kunze okujjako nga gabaweereddwa okuva waggulu. Yok.
19:11.
Lwaki
munkemekereza ngamumbuza ebigambo bino? Mubuze abo abampulirizanga,
bo bamanyi bulungi byenayogeranga. Sayogeranga mukyaama nayogeranga
kaati ensi yonna ewulire. Nayigirizanga mu maku__aniro, nemumpya
za yeekaalu abakkiriza bange mwebakunganiranga.
Oba
byenayogera byamenya amateeka gammwe, mukiweko obujulizi. Naye oba
nayogeranga mazima lwaki munkuba. Yok. 18:20,23.
Obwakabaka
bwange sibwa munsi muno, singa bwali bwamunsi muno, abantu bange
bandilwanye nemutankwata. Naye obwange sibwakabaka bwansi.
Muli
batuufu bwe mumpabira nti ndi Kabaka. Kino kyenazaalibwa okubeera.
Nteekwa okuba omujulizi owamazima. Bonna abagala amazima bategeere
obubaka bwange Yok 18:36,37.
Leero
omulangira wensi eno ajja kuwangulwa. Era bwe nazuukizibwa okuva
muttaka abantu bonna bajja kudda gyendi Yok 12:31, 32.
Kitange
kyaava anjagala kubanga mpaayo obulamu bwange ate nga era mbweddiza.
Tewali muntu abunzijako naye mbuwayo lwa kwagala. Nina obuyinza
okubuwaayo era nina obuyinza okubweddiza. Kitange ampadde obuyinza
nobusobozi. Yok. 10:17 - 18.
Kitange
basonyiwe kubanga tebamanyi kyebakola. Katonda wange, Katonda wange
kiki ekikundeseza. Mat. 27:46.
EBYA
DIRIRA OKUZUKIIRA
Mwe
abasirusiru, era abalwaawo okutegeera ebya banabbi byebayogera,
mulowooza nti Kristo tasaanidde kubonabona alyoke ayingire mukitibwakye.
Mulekere awo obutakkiriza, naye mukkirize. Luk. 24:25, 26, Yok
20:27.
Kino
kye nabagamba nga ndi nammwe nti ebintu byonna birina okutuukirira
ebyawandiikibwa mumateeka ga Musa, nebanabbi era ne mu zabbuli
nga binkwatako. Nti Kristo ateekwa okubonabona era nga kulunaku
olwokusatu alizuukira. Era okwenenya nokusonyiyibwa kwebibi biteekwa
okubuliirwa mu linnya lye mumawanga gonna nga bitandikira mu Yerusalemi.
Luk. 24:44.
Manyi
gye nnava era ne gye __enda. Mmwe temuyinza kumanya wa gye nnava
ne gye __enda. Muli bansi, nze nva waggulu. Muli bansi eno, nze
siri wansi eno. Yok. 8:14,23.
Tewali
n’omu eyali agenze mu ggulu okuggyako oyo eyava mu ggulu, ye mwana
wa Katonda oyo ali muggulu. Mugende mubulire baganda bange nti njakuddayo
ewa Kitange era kitammwe, ewa Katonda wange era Katonda wammwe.
Yok. 3:13.
Lwaki
mweralikirira, nokubusabusa mu mitima gyammwe. Mube nemirembe, mulabe
engalo zange nebigere byange. Munkwateko, mutegeere nti ndi muzuukize,
kubanga omuzimu teguba namubiri namagumba nga nze bwendi nabyo.
Naye kubanga mundabye mukkiriza. Naye balina omukisa abo abatandabye
nebakkiriza. Luk. 24:36 -39.
Mukaseera
mpawekaaga ensi eriba tekyandaba, naye okubeerawo kwange kujja kusigala
mummwe era olwokuba ndi mulamu nammwe muliba balamu Yok 14:19.
BULIJJO
Ngakitange
bweyantuma, nange mbatuma. Yok 20:21.
Mugende
muyigirize amawanga, nga mubabatiza mu linnya lya kitaffe, n’omwaana
nomwoyo omutukuvu. Mugende munsi yonna mulangirire amawulire amalungi
eri abantu. Abo abakkiriza nebabatizibwa balifuna obulokozi, naye
abo abaligaana balizikirira.
Mat
28:20.
Mutegeere
ebisubizo bya Kitaffe bye mbabulidde kubanga ne Yokaana omubatiza
yabatiza abagoberezi be mu mazzi, naye mmwe mulibatizibwa nomwoyo
omutukuvu.
Ebikolwa
1:4,5.
Mulifuna
amaanyi amapya Omwoyo omutukuvu bwalijja, era mulibeera bajulizi
bange ngamutandikira mu Yerusalemi ne Juda, ne Samaliya okutuukira
ddala ku nsonda ze nsi yonna. Mufune omwoyo omutukuvu. Ebikolwa
1:8, Yok 20:22.
Muyigirize
abantu ebintu byonna bye mbagambye, mujjukire nti ndi namwe bulijjo
okutuusa ensi lw’eriggwaawo. Mat 28:20.