OMULEMBE
GUNO
Buli
ankwatirwa ensonyi, era akwatirwa ensonyi ebigambo byange munnaku zino
ezobutakkiriza nekibi, nange ndimukwatirwa ensonyi kulunaku lwendikomawo
mukitiibwa kya kitange nebamalaika. Mako 8:38.
Mubutakkiriza
bwabwe abantu abemirembe gino baagala okulaba akabonero ate nga tewali
kabonero kajja kubaweebwa, okujjako ako akaweebwa Yona. Nga Yona bweyali
mulubuto lwa Lukwata ennaku ssatu emisana nekiro, n'omwana w'omuntu bwatyo
alimala ennaku satu muttaka emisana n'ekiro. Mazima olunaku lulituuka
abantu be Nineeve ekibuga ekyababbi, lwebalisalira omusango abantu abemirembe
gino kubanga bo benenya nga Yona ababuulidde enjiri. Naye asinga Yona
kati ali wano era ayimiridde mumaaso gammwe. Naabakyala wa Seeba naye
alibasalira omusango kubanga ye yava wala nagenda okuwulira amagezi ga
Kabaka Sulemani, naye mulabe asinga Sulemani amagezi ali wano. Omulembe
guno nguyiteki? Balinga abaana abatuula mukatale nga bayita mikwano gyabwe,
nebafuuwa emirere, nebatazina era nebatayimba. Netusalawo okukaaba naye
era tebanakuwala. Yokaana omubatiza, yajja nabeera nammwe mubutuukirivu
buli omu namuyita omuntu aliko badayimoni, nga bamugamba nti mutaamivu
era ayagala nnyo okulya, mukwano gwabakopi era abonoonyi.
Ekyewunyisa
mulina amagezi mangi naye temugakozesa. Mat.11:16 - 19.
Abemirembe
gino obulamu bwabwe bwonna buli mukulimba. Mmwe abalimba ani ayinza okubawuliriza,
kubanga ebijjudde mumitima gyammwe byemwogera. Mat.12:34. Akawungeezi
bwekatuuka mugamba nti obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyufu,
ate kumakya mugamba nti obudde bujja kuba bubi kubanga enkuba ebindabinda.
Oba musobola okumanya embeera y'obudde temuyinza kumanya bubonero bwomunsi
kyebutegeeza? Mat.16: 2 - 3.
Mujje
mwena abakoye era ababundabunda era nange nabawa ekiwummolo ekituufu.
Mutwale ebigambo byange, era muleke mbayigirize, kubanga nze ndi mukkakkamu
era wa kisa. Mujja kufuna ekiwummulo mu myoyo gyammwe. Byembasaba biriwo
lwabulungi bwamwe era nekyembawa okutwala kiwewuka. Mat.11: 28 - 30.
Abo
bonna abasazeewo okungoberera mumirembe gino, olunaku lumu balituula ku
Namulondo era balisalira obwakabaka bwensi eno omusango nabo abakakanyaza
emitima gyabwe nebatawulira bigambo bya butuukirivu. Mat. 19:28.
EKIFO
KYO
__enda
okubatekera tekera ekifo. Yok 14:2
Mumanye
kino, bwe__enda okubateekera teekera ekifo era ndikomawo nate nembatwala
mubeere eyo nange. Eyo gyendiba nammwe mubeere eyo. Emitima gyammwe gireme
okweraliikirira, mukkirize Katonda nange munzikirize. Munyumba ya Kitange
mulimu ebisenge bingi, singa tekibadde bwekityo nandibagambye. Nteekwa
okugenda naye nkomawo. Bwe munjagala mumazima mulisanyuka kubanga ngenda
ewakitange, ate kitange asinga nze. Yok. 14:1-3
Temwewuunya
bwenjogera nti mu kaseera katono munaaba temukyandaba, ate era tekigenda
kutwala bbanga gwanvu mulindaba, mulikaaba era nemuba nennaku nga yo ensi
esanyuka. Mulinyiikala naye obunyiikavu bwammwe bulifuuka essanyu. Yok.
16:19 - 20.
Omukazi
bwaba alumwa awulira obulumi nennaku, naye oluzaala bwati yelabira obulumi
olwessanyu olwo'mwaana azaaliddwa munsi. Kyamazima mujja kulumwa nga __enze,
naye njakubalaba nate, era nemitima gyammwe girisanyuka nessanyu lyammwe
tewali aliribaggyako. Yok. 16: 21 - 22.
OMWOYO
EYASUBIZIBWA
Omwoyo
yalina amaanyi agaleeta obulamu. Yok. 6:63
Bwemunjagala,
mukwate amateeka gange. Nange nja kusaba kitange ajja kubawa omubeezi
abeenga nammwe ennaku zonna. Yooyo omwoyo owa mazima. Ensi temukiriza
kubanga temulaba era tomumanyi. Naye mwe mulimumanya, agenda kubeera
nammwe era anabeeranga mummwe.
Yok.
14:15 -17
Sigenda
kubaleka bamulekwa, kyetaagisa nze okugenda kubanga bwesigenda, omwoyo
omutukuvu omubeezi tagenda kujja. Naye bwe__enda, __enda kumutuma ajje.
Yok 14:18
Bwalijja,
agenda kulaga ensi ekibi ngabwekifanana era nobituukirivu nomusango.
Ekibi kwekugaana okunzikiriza, obutuukirivu kubanga ngenda ewakitange
era nomusango kubanga amaanyi gekibi agomulabe gamaze okumenyebwa.
Nina
ebintu bingi ebyokwogerako naye temuyinza kubitegeera kakati. Naye omwoyo
owamazima bwalijja, ali baluamya okumanya amazima kubanga tagenda kwogera
kububwe, naye buli kyawulira, kyalyogera ngabalaga ebyo ebigenda okujja.
Yok. 16:7-13.
Alitendereza
era alimpa ekitibwa ngalaga ekitibwa kyakitange nekyange. Kyenva mbasubiza
ebintu bino, omwoyo oyo yalibalaga enfanana yange. Yok. 16:14 15.
Singa
omwana wo akusaba omugaati, oyinza okumuwa e Jjinja? Oba bwakusaba ekyenyanja
oyinza okumuwa omusota? Oyinza okuwa omwana omuto ekiwuka ngakusabye eggi.
Oba mmwe abantu bomunsi musobola okuwa abaana bammwe ebirungi, murowooza
kitammwe owo muggulu talinga nyo okubawa omwoyo omutukuvu abo abagusaba.
Luk. 11:11-13.
Omubeezi
omwoyo owamazima gwendituma okuva ewa Kitange, atuuse, oliwa obujulizi
obunfaako. Alibayigiriza ebintu byonna era agenda kubajjukiza byonna bye
mbagambye. Yok. 15:26 14:26
JJANGU
ERI OBULAMU
Buli
akkiriza omwana aliba nobulamu obutaggwaawo. Yok. 3:16
Nagagga
omu yategeka embaga nayita abagenyi bangi. Bweyamala okutegeka nagamba
abakozi be bagende bayite
abayitiddwa nga bwebalangirira nti mujje embaga ewedde okutegeka.
Naye
bonna aba yitibwa nebatandika okwekwasa obusongasonga. Omu yagamba nti
naguze ettaka lyange, nteekwa okuddayo ndirambule sijja kusobola.
Owokubiri
nagamba nti nguze ente zange, nteekwa okugenda okuziraba, sijja kusobola.
Nowokusatu
nagamba nti nze nakawasa sijja kuleka mukazi wange.
Abakozi
bwebaddayo, ne bategeeza omukulu nanyini mbaga, nabagamba nti kale mugende
mangu munguudo muku__anye abaavu, abalema, abalwadde, nebamuzibe mubaleete.
Abakoozi
nebagenda nebakola nga bwe balagiddwa. Era ekisenge ekyalimu embaga nekitajjula.
Nagagga
nalagira abakozi nti muddeyo mukibuga mutambule nga munoonya buli ayagala
okujja mumugamba ajje. Neyeyama nti bali beyasooka okuyita tagenda kuddayo
kubayita nate. Luk. 14:16
-24.
Buli
awulira ekigambo kyange nakkiriza oyo eyantuma, aliba nobulamu obutaggwaawo
era taliba namusango, naye aliyita mukufa naba mulamu nate. Temussamalirira
olwakino, ekiseera kijja abafu lwe bawulira eddoboozi lyomwana wa katonda
era abo abaliwulira eddoboozi eryo baliba balamu. Muntaana zabwe abafu
baliwulira eddoboozi era balizuukira . Abo abakola obulungi balifuna obulamu
obutaggwaawo era naabo abakola ebibi balizukirira okubonabona. Yok. 5:24,
25, 28,29.
Lino
lyekkubo eryobulamu obutaggwawo. Okumanya Katonda owamazima ne Yesu Kristo
eyatumibwa kunsi. Ebigambo byange mu bitwale nga byamugaso kubanga Katonda
bwatyo bweyayagala ensi n'okuwaayo nawaayo omwana we omu yekka. Buli amukkiriza
oleme okufa wabula abeere nobulamu obutaggwawo. Amawulire gano amalungi
galimala kubuna nsi yonna enkomerero n'eryoka etuuka. Yok 17:3, 3:16,
Mat 24:14;
EBIRO
EBYENKOMERERO
Mazima
ddala mbategeeza nti emirembe gino tegiriggwaawo okugyako ngabino byonna
bimaze okutukirira. Mat. 24:34
Waliwo
omutaka omu eyasimba ennimiro ye mizabbibu, kunnimiro nateekako essoggolero
lyomubisi. Yazimbako olukomera neyotolooza ennimiro eyo era natekako
omulongooti. Nampagisa abantu okugikuuma, ye neyengedera mu safaali.
Amakungula bwegatuka omutaka nasindika abakozi eri abakuuma ennimiro
bamuwe amagobage. Naye bbo nebakwata abakozi abo nebabakuba nebabatta,
abalala nebabagoba namayinja.
Omulundi
ogwokubiri natuma abalala era nga basingako obungi abasooka. Kyokka
era nabo nebabakola bwebatyo.
Ekyasembayo
kwekutuma omwana we yenyini. Bwebamulaba nga likumpi okutuuka nebekobana,
nebagamba nti ono ye musika we. Tumutte obusika bube bwaffe. Bwe batyo
nebamutta. Kambabuze, omutaka ono bwalikomawo alibakolera ki abo?
Bantu
bange, bantu bange, mwe abatta banabbi, nemukuba abo ababatumirwa ate
nganze nabaku__anya ngenkoko bwe kuu__anya obwana bwayo, enyumba zammwe
zirekeddwa ttayo era temugenda
kuddayo kundaba okutuusa ngekiseera kituuse lwe baligamba nti awereddwa
omukisa ajja mu linnya lya Mukama. Lk. 13:34 - 35.
Singa
mwali mumanyi munnaku zammwe emirembe gyakatonda egyali gibaleeteddwa.
Naye kati g ikwekedwa temuyinza kugiraba. Amaanyi ge ggulu ganyeenyezebwa,
era emitima gyabantu ginafuye ngabatya ebizibu ebigenda okujja kunsi.
Luk. 19:42, 21:26.
Enkomerero
bwelituuka nemulaba nawokeera nabbi Danyeri gweyayogerako ng'ayimiridde
mukifo ekitukuvu, nemulyoka mutegeera nti mulina okudduka mubibuga mugende
munsonzi. Oyo aliba kunyumba waggulu tayonoonanga biseera bye nti akka
wansi agenda munyumba agyeyo ebintu, n'abo abaliba munnimiro tebonoonanga
biseera bya bwe mbu baddayo eka banone engoye. Naye kiriba kyakabi nyo
eri abali embuto. Musabe ebintu bino bireme kubaawo mu butiti oba kulunaku
olwomusanvu kubanga obulumi bwebireeta tebulabwangako munsi, ate tebugenda
kuddayo kulabwa. Okugyako nga ennaku ezo zikendeezebwako, naye tewali
alirama. Naye zigenda kukendeezebwako olwabantu bakatonda abalonde.
Mat. 24:16-22.
Muliribwamu
enkwe era bilibasalira emisango gyokufa, mulikyayibwa amawanga gonna
olwe linnya lyange. Naye mube begendereza era musabe buli kaseera musobole
okubalibwa mwabo abaliwona ekibambulira kyebyo ebigenda okujja. Era
abaliyimirira mumaaso go mwana womuntu. Mat. 24:9 Luk 21:36.
Muyigire
kumuti ogwenkomamawanga amatabi gaagwo bwe gaanya mu manya nti ekyeeya
kiri kumpi. Tewali muntu amanyi lunaku, wadde essaawa entuufu Kristo kwalijjira.
Wadde bamalayika, okugyako kitange yekka, naye bwe mulabanga ebyo byonna
byenjogeddeko, ngamumanya nti olunaku luli kumpi. Mat. 24:32,33,36.
OKUDDA
KWE
Nolwekyo
mutunule, kubanga temumanyi ssaawa mukama wammwe mwaliddira. Mat. 24:42.
Mwegendereze
omuntu tabalimba nga, kubanga munaku ezoluvanyuma bangi balijja ngabakozesa
erinnya lyange ngabagamba nti nze Kristo era balirimba bangi. Banabbi
abobulimba baliyimuka era nabo balikirizisa bangi ebyobulimba. Mat.
24:4-5, 11.
Temukkirizanga
bwebalibagamba nti, aliwano alinga Kristo, oba waliwo omuntu alinga
Kristo wali. Waliyimukawo ba Kristo bangi era nebanabbi abobulimba ngabalaga
ebyamagero nobubonero, nabatukuvu balirimbibwa.
Bwe
babagambanga nti ali muddungu, togendangayo, bwebaligamba nti alimukifo
nze nkimanyi nzeka, tobakkirizanga. Era ng'okumyasa bwekulabika mubbanga
wonawona, nomwana womuntu bwatyo bwalirabika. Mat. 24:23 - 27.
Kunkomerero
yensi obubonero obulaga okujja kwe bulirabika, ensi zonna zonna ziriyuguma
kubanga ziriraba omwana womuntu ngajja namaanyi nekitibwa era zirilaba
omwana womuntu ngatudde kumukono ogwaddyo ogwa Katonda omulamu ngajja
mubire. Alituma bamalayika be neddoboozi eddene eryekondeere bali ku__anya
abalonde okuva ku sonda enya ezensi, okuva ewala nokumpi, era nebabawa
emigabo okusinziira ku bikolwa bya buli omu. Mat. 24:30-31.
Nga
bwekyali munnaku za Nuuwa, bwekiriba ne munaku zokujja kwo mwana womuntu.
Nga amataba teganabaawo, baali balya, nga banywa, nga bakyakycankya,
ngabawasa era nga bafumbirwa. Nuuwa nayingira mu lyato, nebatafayo kukulabulwa
okwamataba. Mat. 24:37-39.
Era
bwekityo bwekyali munaku za Luuti. Baalya, ne banywa, nebagula, era
nebatunda, ngabazimba era ngabalima, naye olunaku Luuti lweyava mu Sodoma,
omuliro gwa tonya kunsi negubazikiriza bonna, bwekityo bwekiriba ne
kulunaku olwomwana womuntu. Luk. 17:28 - 30.
Muleme
kuteeka mitima gyammwe ku bugagga bwensi nemwerabira okujja kwange,
kubanga okujja kwange kuliba kwambagirawo. Luk. 21:34 - 35
Ababiri
baliba munnimiro, omu alitwalibwa omulala alirekebwa. Abakazi babiri baliba
bassa kulubengo omu alitwalibwa omulala alirekebwa. Nolwekyo mutunule
kubanga temumanyi lunaku mukama waffe lwalidda. Naye mumanye kino nti
singa abantu abali munju baali bakimanyi nti omubbi ajja kujja ssawa bweti,
bandibadde tebebaka era tebandikiriza mubbi kumenya nyumba yabwe. Mbakakasa
nti banabbi bangi ne bakabaka abaayagala okulaba ebintu bino byemulaba
kakati naye tebaafuna mukisa. Era bangi kubo abaayagala okuwulira bye
mumanyi kakati naye tebasobola. Mmwe mulyabye obunabbi bungi obutuukiridde.
Mulongose
emitima gyammwe kubanga mu kiseera mwe mutasubirira omwana womuntu mwalijjira.
Luk. 10:24, Mat. 24:40 -44.
Muwulirize
olugero lwemperekeze ekkumi abatwaala ettala zaabwe okusisinkana omugole
nga baagala okumuliisa ekkubo lye. Ekibiina kyabawala kino kyaalimu emirundi
ebiri.
Abataano
baali bagezi, nabataano nga basiru. Abo abasiru balina ettala, naye tebaalina
mafuta gamala. Naye bali abagezi balinawo amafuta age nsuso. Naye ekyokusalirwa
omugole omusajja yalwaawo okutuuka bonna nebebaka.
Naye
muttumbi wakati, oluyogaano neluwulirwa. Omugole omusajja atuuse mujje
mumusisinkane.
Amangu
ago abawala nebagolokoka nebetegeka ne ttala zabwe, naye abataano nebesanga
amafuta nga bawedeko, kwe kusaba banabwe babaweeko kugaabwe, naye bo nebagaana.
Nebabagamba bagende bagule mangu.
Naye
baali bakyaali eyo, omugole omusajja natuuka era abo abaali betegese nebagenda
naye kumikolo. Oluggi nelugalwawo. Oluvanyuma ngawayiseewo ekaseera nabali
nebakomawo, nebayita babaggulirewo. Naye nanyini mukolo nagaana okuggulawo
nti tabamanyi. Mat. 25:1 - 12.
Bawereddwa
omukisa abo mukama balisanga nga bamurindiridde bwalikomawo nebwalidda
wakati muttumbi oba nga busasana. Mbategeeza nti alyambala ekyambalo kye
nabaaniriza ku kijjulo era ye yenyini nabagabula. Luk. 12:37 - 38.
Nolwekyo
mwetegeke, kubanga temumanyi lunaku, oba essaawa omwana womuntu lwaliddirako.
Bulijjo obulamu bwammwe bube bwetegefu ne ttala zammwe nga zaaka, nga
bakozi abalinda kulugi ngabalindirira Mukama waabwe okukonkona. Mat. 25:13
Luk. 12:36 -37.
Kyangu
nyo eggulu nensi okuggwaawo naye tewali nakamu ku bigambo byange ekitali
tuukirira. Luk 16:17.
|