Enkuba
ettonya era amazzi negalaala omuyaga neguyuuza enyumba naye netagwa
kubanga ezimbiddwa kulwaazi.
Naye
buli muntu awulira ebigambo byange ebyobulamu nabigaana aba azimbye
ku musenyu nga gwemusingi gwe. Enkuba ettonya, amazzi ne galaala,
omuyaga ne guyuuza enyumba ne saanawo, era ekigwo kyaayo kyewunyisa
abantu. Mat 7:24 - 27.
Abantu
babiri bagenda mu kanisa okusaba. Omu ngawamalala, yetukuza, omulala
nga muwooza era nga talina bwesigwa. Owamalala nasaba esaala ng'agamba
nti, webale Katonda kubanga nze siri mwonoonyi ngabalala naddala
siringoyo omuwooza gwendaba munsonda. Siri munyazi siri mwenzi,
nsiiba emirundi ebiri mu ssabiiti era mpayo ekimu ekyekumi mu
kkanisa.
Naye
omuwooza yasigala eri emabega wekkanisa ngatasobola nakutunula
waggulu ngasaba. Nasaba nagambanti Katonda onkwantirwe ekisa nze
omwonoonyi atasaana.
Kambategeeze
nti oyo omuwooza eyategeera ekisa kya katonda yaddayo eka ngamuwewufu
mu mutima gwe era ngasonyiyiddwa. Abo abamalala abegulumiza balitoowazibwa
naye abo abetoowaza baliba waggulu webizibu byensi eno, era balituuzibwa
mukifo ekyomukisa eky'ekitiibwa. Luk 18:10-14
Muleke
abaana abato bajje gyendi temubaziyiza kubanga obwakabaka obwomugulu
bwaabo abalina emitima emyesigwa. Awatali kuba nabwesigwa nga obwa
baana tewaliba ayingira Muggulu Luk 18:15 - 17
Buli
yenna alondawo okukola kitange byayagala ajja kuvumbula oba ddala
bye njigiriza bya Katonda oba mala gayigiriza byange kubwange. Enjigiriza
yange siyange naye y'oyo eyantuma. Yok 7:17, 16
Ensi
esinza mungeri yakizibe kyamaaso, kale kale ko ffe abayudaya tumanyi
kyetusinza era n'obulokozi bwensi buva muffe. Munzikirizze, ekiseera
kijja era kituuse abantu abalisinza Katonda tebagenda kudduka ngabadda
wano newali ngabanonya katonda wasanide okubeera ngabagamba nti
wuno, wuno wano wetusanira okusabira.
Abasinza
abatuufu balisinza Katonda mumwoyo ne mumazima. Katonda Kitaffe
ayagala abo abasaba mungeri eyo. Abantu basanidde okusinza nokutendereza
oba tebasobola amayinja galikikola Yok 4:2 - 24. Luk 19:40
Osanga
mwasomako nti Daudi Kabaka nabasirikale be baali balumwa enjala
nebayingira mu Yeekaalu nebalya omugaati omutukuvu ogwali ogwa ba
kabona ekintu ekyali kigaanibwa mumateeka g'eddiini.
Singa
mwali basomi bamateeka gaba ebbulaniya mwandibadde mukitegeera nti
ku ssabiiti bakabona abakola mu Yeekaalu bonoona olunaku lwa ssabiiti
songa ate tebanenyezebwa. Waliwo ebintu bingi nyo ebyomugaaso ebisinga
amateeka ga Yekaalu.
Singa
mubadde mutegeera amakulu ge kyawandikibwa kino "Nandimaze
gaba n'okusasira okusinga okuwaayo ekiwebwaayo" mwandibadde
temukyanenya batalina musango kubanga omwana w'omuntu ye Mukama
wa ssabbiiti.
Singa
ensolo gyolabirira egudde mukinya kulunaku olwa ssabbiiti tewandikoze
kyonna kyosobola okugigyayo? Obulamu bwammwe tebusinga muwendo?
Temulowooza kukintu kyonna ekyokukola kussabbiiti, mulwa mu Yeekaalu
ngamukola emikolo nobulombolombo, naye lwaki munnenya olwokuwonya
ku lunaku lwamukama. Mulituusa wa okunjogerako bwenkola ekintu.
Mutandike okusala emisango egyensonga.
Ssabbiiti yateekebwawo kulwammwe so silwamme olwa Ssabbiiti
Mat 12:3 -12, Yok 7:23,24.
Nzize
munsi muno abazibe batunule naabo abewaana nti balaba bategere nti
bazibe Yok 9:39.
EMIKISA
Bawereddwa
omukisa abawulira ekigambo kya Katonda nabakigoberera. Luk 11:28,
Mat 24:46
Bwemukola
bwemutyo, munagezebwanga kumuddu, Mukamawe gweyasaanga nga akola
byayagala Mat 24:46, Luk 11:28
Bawereddwa
omukisa abeesiga Mukama kubanga obwakabaka obwomuggulu bwe bwabwe.
Bawereddwa
omukisa abamanyiridde ennaku kubanga balizibwamu amaanyi era balifuna
okwesiima.
Bawereddwa
omukisa abetaaga mubwetoowaze kubanga ensi yonna eriba yaabwe.
Bawereddwa
omukisa abalumwa enjala nenyonta olwobutukirivu kubanga balikkusibwa
era nebajjuzibwa.
Owereddwa
omukisa bwooba nokusaasira kubanga nawe olisaasirwa.
Owereddwa
omukisa bwooba omuyonjo mumutima gwo kubanga oliraba Katonda.
Owereddwa
omukisa gwe aleeta emirimbe kubanga oliyitibwa mwana wa Katonda.
Owereddwa
omukisa gwe anoonya obulokozi kubanga olifuuka mutuuze mubwakabaka
obwomuggulu.
Owereddwa
omukisa bwobonabona nolaba okulumwa olwokukola byenjagala. Sanyuka
era buuka nessanyu kubanga omugabo gwo guliba munene muggulu. Mungeri
eyo babonyabonya abatukuvu abedda. Mat 5: 3 - 12.
Ng'ate
kyamukisa munene nyo eri abo abatandabangako nebakkiriza era nebaba
nokuneesiga. Amaaso gammwe galina omukisa kubanga galaba ebyamazima
namatu gamwe kubanga gawulira ebyamazima. Yok 20:29
Mujje
mmwe abawereddwa omukisa Kitange, musikire obwakabaka obwabategekerwa
okuva ensi lweyakolebwa netekebwa kumusingi. Mat 25:34.
AMAANYI
AGALI MUKUSABA
Naguno
gujwa temusabanga kintu kyonna mulinya lyange. Musabe muliweebwa
mube nessanyu lingi Yok: 16:24
Ogenda
ewamukwano gwo nomugamba nti mpolayo emigaati esatu. Nina abagenyi
abavudde ewala sirina kantu.
Ye
nakuddamu nti tontawanya, ffe twebase nabaana bange, siyinza kukuyamba.
Kankutegeeze newankubadde
nga mukwanogwo oyo tajja kuzuukuka, bwonoyongera okumutawanya ajja kuzukuka akuwe
emigaati gyoyagala.
Genda
mu maaso, saba kijja kukuwebwa, noonya ojja kuzuula, konkona oja
kugulibwaawo kubanga buli asaba aweebwa, anoonya azuula era akonkona
olugi aggulirwaawo. Luk
11:5 - 10.
Mukibuga
ekimu mwaalimu omulamuzi omuzibu nga tatya Katonda era ngatafaayo
kubaliraanwabe. Mukibuga ekyo kyekimu mwalimu namwandu eyagenda
ewomulamuzi ono entakera ngayagala amuyambe atunule munsongaze nomuntu
omulala. Omulamuzi ono teyamufaako okumala ebbanga ddene naye oluvanyuma
yeddamu nagamba nti wadde sitya Katonda, wadde sagala kuyamba naye
namwandu ono kamuyambe kubanga antawanyiza nyo nomusango gwe.
Katonda
talisalirawo bantu be abamukabirira buli kaseera. Mulowooza alibagoba?
kambategeeze nti agenda kubalamula mangu. Ekikulu ekiri mubigambo
bino kyekino: Nze Kristo bwendikomawo ndisangawo abakiriza kunsi
kuno? Luk 18:2 - 8.
Sitegeeza
nti okusaba kwammwe kutekwa kubeera kwalutentezi. Nabantu bensi
basaba bwebatyo ngabalowooza nti bajja kuwulirwa ngabogera ebigambo
ebingi. Temubagegenya ng'abo. Mujukire nti kitammwe amanyi byemwetaaga
nga temunaba nakusaba Mat 6:7 - 8, Isa 56:7.
Nnabbi
Isaya yawandiika nti enyumba yange ejja kuyitibwanga yakusaba Mat
21:13.
Nolwekyo
musabe kitamwe awuliriza okusaba kwammwe era nasasula mulwaatu.
Buli kyonna kyemunasabanga Kitange mulinya lyange ajja kukibawa.
Obulamubwammwe bwebubeera munze nebigambo byange nebibeera mumitima
gyammwe, musabe kyonna kyemwagala kijja kubawebwa Mat 6:6, Mk 11:24
Musabe
bwemuti; Kitaffe ali muggulu ensi zonna zikutendereze, zitegere
nti gwe Katonda weka omutukuvu. Tuwe emmere eyokutubeezawo era otusonyiwe
ebyonoono byaffe nga bwetusonyiwa abo abatwonoona, tuziyize okugenda
mukwonoona era otukume okuva eri omubi.
Kubanga
obuyinza, nekitibwa byonna bibyo emirembe gyonna. Bwekityo bwekiri.
OBUGAGGA
OBULI MUGGULU
Kolera
munno kyewandyagadde ye akukolere. Luk 6:31.
Waliwo
omusajja nagagga eyayambalanga amajolobera era nga obulamu bwe
budibuuda olwebintu ebingi byeyalina.
Mukibuga
kyekimu mwalimu omusajja lunkumpe ngabamuyita Lazaalo eyatuulanga
kuluuggi lwa Nagagga. Yalyanga obukunkumuka obwaavanga kumeeza
ya nagagga ono. Embwa zikireresi zezaali mukwano gye zokka.
Ekiseera
kyatuka Lazaalo naafa natwalibwa bamalayika mumikono gya Ibulayimu.
Ekiseera kitono ne Nagagga naye naafa era nazikibwa.
Mu
geyeena nagagga nayimusa amaasoge mubulumi nalaba Ibulayimu walako
ngali ne Lazaalo amuwambaatidde. Muddoboozi eryomwanguka nawowogana
nti Ibulayimu nyamba. Tuma Lazaalo ajje gyendi. Leka Lazaalo anyike
olunwe mumazzi ampozewoze. Obulumi bwomuliro bundi bubi.
Naye
Ibulayimu naddamu nti jjukira mwana wange mubulamu walina ebintu
ebingi naye nga Lazaalo ali mukubonabona. Kakati ye ali bulungi
ggwe oli mubulumi. Ate kankutegeze nti wakati waffe waliwo olukoonko
olutatukiriza kujja eyo, era naawe toyinza kujja eno gyetuli.
Bweyawulira
ebigambo bino nagamba Ibulayimu nti nkwegayiridde tuma Lazaalo
ewaffe eka eriyo baganda bange bataano abalabule baleme kujja
eno gyendi. Ibulayimu naddamu nti waliyo Musa nebanabbi, bawulire
abo.
Naye
nagagga nagamba nti tumayo omuntu okuva eno yanaasinga okubanyonyola
bennenye. Ibulayimu naddamu nti oba tebayinza kwenenya nga Musa
ne banabbi babategeezeza, tebajja kuwulira nebwetunatuma ava eno
gyetuli okubalabula. Luk 16:19-31.
Tewali
kyoganyulwa bwoyamba oyo gwosuubira okukuyamba. Nebakondo nabo
bawola sente zaabwe ngabakimanyi bulungi nti bajja kusasulwa.
Mbategeeza kakaano nti wa oyo ajja gyoli ngatasubira kukuddizawo
nate. Era osonyiwe newankubadde omuntu ngoyo akulimbyelimbye
bulimbilimbi.
Luk
6:34, 30.
Abaavu
bwebagaba basiinga nyo abagagga abawaayo kubifikiridde. Abaavu
bawaayo kubitono byebalina olwomwoyo ogwo kwagala gwebalina. Mak
12:43, 44.
Ngakizibu
nyo eryaabo abalina omululu gwe sente okuyingira mubwakabaka bwa
Katonda. Kyangu nyo
e__amira okwenyigiriza mukatuli kempiiso okusinga omugagga okuyingira
mu bwakakaba bwa Katonda. Mak 10:24, 25,27.
Temuterekanga
byabugagga muttaka enkuyege nobutalagge mwebiyinza okubyonenera
era ababbi oluusi mwebayinza okubibbira. Naye mutereke ebyobugagga
bwammwe muggulu etali nkuyege nabutalagge,
etali babbi namigozoobano ebiyiinza okubyonoona. Gyotereka
ebyobuggaga byo, eyo omutima gwo gyegubeera. Mat 6:19 - 21.
Abamu
mukola ebingi kubanga mwagala okusiimibwa abantu. Ebyo tebigenda
kusasulwa Kitamwe ali muggulu. Bwemugaba temuba ngabananfunsi
abakuba ebidde mu makkanisa nemunguudo ngabeyogerako. Abo bamaze
okufuna empeera yaabwe. Mat 6: 1 - 2.
Tokkiriza
namukonogwo ogwakkono okumanya ogwaddyo kyegukola. Mugabe mukimpoowoze
ate mukyama era kitamwe ali muggulu alaba mukyaama alibasasula mulwaatu.
Mat 6:3 - 4.
Muyige
okugaba era nammwe muligabirwa ekisukiridde kye mutasubirangako.
Ekigera kyemugerera banamwe namwe kyemunagererwanga. Luk 6:38.
Waliwo
omusajja eyafuna ebyobugagga ebingi. Nalowoza mumutima gwe nti bino
byonna nabiteekawa. Nasalawo okumenya amaterekero geyalina nazimba
amanene agasiingawo. Olwo
nalowooza nti ebintu bye byonna agya kubiteeka omwo atandike
okulya, nokunywa nokusanyuka.
Naye
Katonda namugamba nti musirusiru ggwe tomanyi nti ekiro kyaleero
obulamubwo bujja kukugibwaako. Bwonovaawo ebyo byonna binaaba byaani.
Bwekityo
bwekiri eri abo abalina ebyobugagga ebyensi eno naye nga sibagagga
mu Katonda. Kyamugaso ki okubeera ne bintu byonna ebyomunsi nga
bijja kuletera okufirwa obulamubwo? Luk. 12:16 - 21.
OKUKIRIZA
OKUSIGULA ENSOZI
Okuweebwa
kwammwe kujja kusinziranga ku kukkiriza kwammwe. Mat. 9:29
Bangi
balijja munnaku ezoluvanyuma, okuva mubuli nsonda y'ensi, nebayingira
mubwakabaka obwomuggulu. Naye abo abeyita abatukuvu, abalowoozanga
nti bebalisooka naye ate ngobulamubwabwe temwali kukkiriza, tebaliyingira.
Mat. 8:11 - 12.
Ababiri
bwebakkiririza mukintu, okusaba kwabwe kugenda kuddibwamu kitange
owo muggulu kubanga awabeera ababiri oba abasatu ngabakunganye
mulinya lyange nange mbeerawo. Mat. 18: 19 - 20.
Obubonero
buno bunagendanga naabo abakkiriza. Mulinya lyanga munaagobanga
emizimu, munayogeranga ennimi, emisota oba ebintu ebyobusagwa
tebibakolengako kabi, munateekanga emikono gyamwe kubalwadde nebawoona.
Mk. 16: 17, 18.
Nebwemunabanga
nokukkiriza okutono enyo, munagambanga ensozi nti ziveewo, nezivaawo.
Bwemukiriza nti kino kisoboka ngatemubusabusa buli kyonna kyemunasabanga
kinakolebwanga.
Kyenva
mbagamba nti, buli kyonna kyemunayagalanga mukkirize nti kibawereddwa.
Nga bwemutemberwa omwoyo (Mat. 17:20) ebizibu byemusanga
kunsi bingi binawangulwanga namaanyi agomuggulu, era buli kyonna
kyemunakkirizanga kunsi bwekityo bwekinabanga.
Mat. 18:18.
Temutya
okuva leero naye mukkirize buli kintu kyangu eri oyo akkiriza. Mak.
5:3, 9:23.
OBUGUMIKIRIZA,
OKUSASIRA, NOKUSONYIWA
Bwosonyiwa
akatono, oyagalibwa katono.
Lk 7:47, Lk 7:41, 42
Omuntu
omu yakebera ebitabo bya mikwanogye babiri abamwewolako ensimbi.
omu yamwewolako ebitundu bya zaabu bitano, omulala ebitundu bya
zaabu ataano. Bweyalaba ngatebasobole kumusasula bombi nabasonyiwa.
Mulowooza kubombi ani yasinga okwebaza? Lk 7:41 - 42.
Mungeri
yeemu ekiseera kyatuuka Kabaka omu yatuusa ekiseera ekyokukebera
ebitabo bye ebyensimbi. Omu kubaddu be yaletebwa gyali eyalina
ebbanja ery' ebintu
bya zaabu omutwaalo gumu. Olwokuba kyali kizibu nyo omusajja ono
akusasula sente zino, Kabaka yakozesa eteeka ekaambwe nti owengeri
eno amaka ge gonna galina kuwambibwa, abantu be bafuuke baddu
nebintu bye byonna bitundibwe. Munaku eyekitalo omusajja oyo yagwa
wansi nakabirira Kabaka namugamba nti mukama wange era Kabaka
wange, nkusaba ongumikirizeeko njakusasula byonna.
Kabaka
yawulira enyiike, nasonyiwa omusajja ano namugamba nti genda.
Omusajja byeyali atambula nasanga mukwano gwe eyalina ebbanjalye
elya zaabu ataano. Mukifo kyokusaasira omuntu ono yamukwata namunyiga
emimiro ngabwawogana nti
mpa sente zange.
Mukwanogwe
yafukamira wansi namwegayirira ngabwagamba nti nsasira njakusasula
sente zo zonna. Naye abanja teyawuliriza, namutwala mu kadukulu
bamusibe okutuusa nga asasudde sente zze.
Ekyomukisa
omulungi waliwo abaamulaba ngakola kino nebagenda nebabuulira
Kabaka. Kabaka natumya omusajja ono namugamba nti musajja ggwe
ngooli mubi. Nze nakusonyiye ebbanja eryenkanidde awo kubanga
wa negayiridde naye ggwe tosobodde kusonyiwa muno gwobanja obusente
obutono. Bweyamala okwogera ebyo nagamba basajja be nti mumutwale
mumusibe okutusa lwalisasula ebbanja lyange lyonna.
Bwatyo
Kitange ali mugulu bwalibakola bwemuligaana okusonyiwa aboluganda
okuviira ddala kuntobo ze mitima gyammwe. Mat 18: 23 - 35.
Tolowooza
nti ojja kusonyiwa mirundi musanvu gyokka naye nsanvu emirundi
musanvu. Mubeere nemirembe mweka namweka era nabalabe bamwe. Okuyombagana
buli kaseera kuleeta mitawaana gyokka, nga okugenda mu kooti,
mukadukulu nokusibwa. Mk 18:22, 5:25
Mujjukire
enjogera eno liiso ku liiso, linnyo kulinnyo. Naye kati mbagamba
nti omuntu yenna bwakukubanga kuluba, kyusa nolulala alukube.
Omuntu bwakujangako ekizibaawo kyo, nesaati nayo gimuwe. Omuntu
bwakugambanga nti mperekerako mailo emu olwempaka muwerekereko
mairo bbiri.
Bawe
abo abakusaba. Togaananga kuwuliriza omuntu bwajjanga gy"oli ngalina
kyeyetaaga. Mat 5:38 - 42.
Bwoyimiriranga
mukifo okusaba kikole ngolina omutima ogwagala okusonyiwa nga kitaawo
owomuggulu bwakusonyiwa. Bwotwalanga ekiwebwaayo mukkanisa nojjukira
nti waliwo owoluganda gwolinako ekkoonda kirekaawo ku wolutaali
oddeyo mumale okusonyiwagana. Owoluganda bwakusobyanga, genda gyali
mukyaama omubulire. Bwakuwuliriza ng'omaze okumununula. Mk 11:25,
5:23.
Laba
nga osonyiwa ebikyaamu ebikukoleddwa, obulamu bwo bujja kujjula
obusaasizi nekisa. Mat 6:14
OBULAMU
OBUBALA EBIBALA
Abantu
munabamanyiranga kubibala ebikula mubulamu bwaabwe. Mat 7:16.
Muli
munnyo gwansi. Omunnyo bweguggwaamu ensa guba gukyayinza gutya
okuyitibwa omunnyo? Guba gusigalidde kusulibwa nakulinyirirwa.
Mwali munoze emizabibu kumiti egya maggwa? oba enkomamawanga ku
maggwa? Omuti omulamu teguyinza kuzaala bibala bibi. Era omuti
omuuvundu teguyinza kubala bibala biramu. Bwekityo omuti omulungi
gubala ebibala birungi nomuti omuuvundu gubala ebibala bibi. Buli
muti ogubala ebibala ebibi gutemebwa negufulibwa enku. Abantu
beyisa mumpiisa zaabwe olwebibala ebibavaamu. Mat 5:13, 7:17 -
20.
Omuntu
yasimba omuti ogwenkomamawanga mu nnimiro ye. Namala emyaka esatu
ngalindirira ebibala byaagwo. Naye tewaali nekibala nekimu kyeyafuna.
Kwekulagira omukozi nti aguteme kubanga gumala bbanga lyabwerera
munnimiro. Naye omukozi namudamu namugamba nti, mpaayo omwaka
gumu ngulimirire ngatekako ebijimusa osanga gulibala ebibala.
Bwegulitabala oligutema. Luk. 13:6 - 9.
Obulamu
bwamwe bwebuzaala ebibala, kitange aweebwa ekitiibwa era muba
batume bange abanamaddala. Omuntu omulungi avaamu ebibala birungi
era nomubi avammu ebibala bibi. Yok 15:8, 12:35.
Omulimi
yagenda munnimiro okusiga, bweyaling'asiga ensigo ezimu nezigwa
kumabbali gekkubo ennyonyi nezijja nezizirya. Ensingo ezimu zaagwa
kulwazi awataali ttaka limala. Zamera naye olwokuba tewali ttaka
limala, emirandira tegyagenda wala nezikala. Ensigo ezimu zaagwa
kumagwa, amagwa negazikonvubya. Naye ezimu zaagwa kuttaaka eddungi
era nezibala ebibala, endala emirundi kikumi, endala emirundu
nkaaga ne endala emirundi asatu.
Omuntu
bwawulira ekigambo kya Katonda natakitegera omulabe ajja nabba
ekigambo ekyo; eyo yensigo eyagwa kumabbali gekkubo. Ensigo eyasasana
kulwazi beebo abantu abawulira ekigambo era nebakikiriza naye
nga tebalina mirandira gyammizi. Emitawana nokuyiganyizibwa bwebijja
olwokukiriza Katonda babivaako.
Ensigo
eyasigibwa mumaggwa beebo abantu abawulira ekigambo kya Katonda,
naye olwe misoso gyensi eno nokwagala obugagga bwe biyitirira, ekigambo
kikonvuba mubo nebatazaala.
Ensigo
eyagwa kuttaka eddungi beebo abantu abawulira ekigambo nebategeera
obubaka obukirimu. Obulamu bwaabwe buzaala amakungula amangi agemirundi
kikumi, nkaanga oba asatu kweezo ezasimbibwa. Mat 13: 3,
8: 18 -23.
EMBEERA
YOBULAMU NOKUWONYA OKWOMUBIRI NOMWOYO
Abalamu
tebeetaaga musawo naye abalwadde. Mat 9:12, Hos 6:6
Mutekwa
okutegeera kino, obusasizi kyekintu kyenjagala naye si biwebwayo.
Kubanga sajja kuyita batuukirivu naye abonoonyi benjagala benenye.
Mulowooza abalwadde setaani basibyeko akanyaaga sibebetaaga okusumululwa.
Mat 9:12 - 13.
Kizibu
okugamba nti ebibi byo bisonyiyiddwa oba okugamba nti yimuka ogende?
Kakati nno mukutegera awatali kubusabusa nti omwana womuntu alina
amaanyi kunsi okusonyiwa ebibi. Ngamba omulwadde nti yimuka, sanyuka
ebibibyo bisonyiyiddwa, wegendere. Nga bwokkiriza, okukkirizakwo
kukuwonyeza. Mat 9:5, 6:2, 8:13.
Musumba
wangeriki alina endiga ekikumi, emu nemala emubulako, ataleka kyenda
mumwenda ngazilya nagenda okunoonya eyo abuze. Endiga eyo bwagiraba
tagiteeka ku kibegabega ngomutimagwe gujudde essanyu? Tayita mikwanogye
nebalirwanabe n'abasaba bamusanyukireko kubanga azudde endigaye?
Mbategeeza amazima essanyu eriri muggulu lisinga wala eryoyo owendiga,
singa omuntu yenenya. Ate ani kummwe alina ebintubye ebyomuwendo
nabuzaako kimu ekiro, atakoleza ttaala, kukinoonya?
Bwakizuula
tategeeza mikwano gye nebamusanyukirako. Bwebatyo bamalayika muggulu
bwe basanyuka ngomwonoonyi yenenyeza. Luk 15:4 -10.