OKUYITIBWA
Temwannonda,
nze mbalonze, era nembatuma mugende mubale ebibala mubulamu bwamwe
ebyoluberera Yok 15:16.
Omuntu
yalina batabanibe babiri nagamba omukulu nti genda okole munnimiro.
Omwana oyo nagaana naye oluvanyuma neyeddamu nakola ngakitaawe bweyamulagira.
Oluvanyuma
kitaawe ate nagamba omuto naye agende munnimiro. Omuto yakiririzaawo
okugenda naye nasigala eka natagenda. Kubonna ani eyasanyusa kitaawe?
Lwaki
mumpita omulungi, okugyako ngamukiriza nti ndi Katonda? Mutegeera amateeka,
Toyendanga, tottanga, tobbanga, towayirizanga, ossangamu kitaawo nenyoko
ekitiibwa. Mukole bwemutyo muliba nobugagga muggulu. Mugaanye okuwa
abo abetaaga ku byobugagga bwammwe nokubayamba, musazeewo kungulumiza
mubigambo. Mak 10:18 -22.
Oba
mwagala okungoberera muleke efubitizi nokwefaako mwekka. Mukole ebyo byembagabye
mulyoke mungoberere. Abo abagala okungoberera balina okuleka embeera
zaabwe ezedda. Abo abakola ekyo bajja kuzuula obulamu obugya kunsi ne
muggulu. Mat. 16:24 - 25.
Waliwo
Kabaka omu eyateekateeka embaga yomwanawe, byonna byonna biba biwedde
natuma abakozi mu bitundu byonna ebyegwanga lye, namabaluwa okuyita
abagenyi bajje kumbaga eya ssava. Naye ekyomukisa omubi, bonna beyayita
nebagaana okujja. Abamu bekwasa ensonga ezitaliimu. Abalala nebakuba
abakozi bano nebabatta.
Kabaka
bweyakimanya, nanyiiganyo, natuma abasirikale nebakwata abantu bano,
nebabatta nebokya nenyumba zaabwe. Ate natuma abakozi abalala nti bagende
baku__anye bonna bebasanga mungudo babaleete kumbaga. Bwebatyo abakozi
nebaleeta buli muntu gwebasanga omulungi nomubi ekisenge ekyalimu embaga
nekijjula.
Akawungeezi,
Kabaka nagya okulaba abagenyi kyoka ne yewuunya bweyalaba omu kubagenyi
ngatayambadde kyambalo kyambaga ngali kummeeza. Namubuza;" yazze atya
kumbaga ngatalina kyambalo," naye nga butise matama. Kabaka kyeyava
agamba abakozi nti bamusibe bamufulumye mangu.
Kambategeeze
bangi bayitiddwa mu bwakababa obwomuggulu, naye batono abalondemu. Ekiseera
kituuse, obwakabaka obwomugulu buli kumpi. Nze njagala mweyawule kubintu
byensi eno nengeri gyeyeyisamu. Mwambale ekyambalo ekyobulokozi era
mukirize amawulire amalungi. Mat 22:2 -14, Mak 1:15, Yok 15:19.
Tewali
n'omu ayinza kujja gyendi okugyako nga Kitange eyantuma amuleese gyendi.
Omuntu oyo ndimuzuukiza kulunaku olwenkomerero. Abo bonna Kitange bampadde
bajja kujja gyendi era sigenda kubaziyiza. Yok 6:44, 37.
Mukkiriza
ebigambo bino byembagambye? Mazima mbategeeza mugenda kulaba nebisingawano.
Yok 1:50.
Nolwekyo
muyingire mumulyango omufunda kubanga omulyango omugazi gwaabo abagenda
okuzikirira era bangi abagweyuna. Naye guno omufunda ogugenda eri obulamu
obutaggwawo batono abagulaba. Mugezeeko nga bwemusobola okuyita mumulyango
ogugenda eri obulamu obutaggwaawo. Ekiseera kirituuka abantu bangi nebasalawo
okuyita mumulyango omufunda naye nga tebakyagulaba. Mat 7:13 - 14, Luk
13:24.
EKYOKUZAALIBWA
OMULUNDI OGWOKUBIRI
Temwewuunya
bwengamba nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Yok. 3:7
Mazima
mbateegeza nti okugyako nga muzalibwa omulundi ogwokubiri temugenda
kuyingira mu bwakabaka bwa katonda. Okugyako nga muzalibwa namazzi no
mwoyo, temugenda kuyingira mu bwa kabaka bwa Katonda. Yo 3:3,5
Ekyo
ekizalibwa omubiri kiba mubiri. Empewo enkuntira gyeyagala era tuwulira
eddoboozi ly'ayo naye tetuyinza kumanya gyeeva negyegenda. Bwekityo
bwekiri ne kwooyo azaaliddwa omwoyo. Yok 3:6,8.
Mulowooze
kukyokulabirako kino. Tewali muntu atunga ekiraka mulugoye olupya kubanga
ekiraka ekipya kiyuza olugoye olukadde era ekituli nekiba kinene okusinga
bwekibadde. Era tewali ateeka mwenge mupya mundeku enkadde kubanga ziyinza
okwabika neguyiika era nekuba kufiirwa. Muteeke omwenge mundeku empya
era zikuuma bulungi omwenge. Mat 9:16,17.
Mwe
muyinza mutya obutateegera mazima agenkukunala atengamuli bayivu. Nze
mbabulidde ebigambo bino nga nkozesa ebyokulabirako byemumanyi naye
temutegeera kyenjogera. Kale munategeera mutya bwenababulira ebifa muggulu.
Yok 3:10, 12.
Katonda
teyatuma mwanawe kusalira nsi musango naye kyayagala abantu balokoke
ngabayita muye. Buli amukiriza omusango tegumusinga, naye buli atakiriza gumaze okumusinga kubanga takiriza mu linnya lya
mwana wa katonda omu yeka Yok 3:17,18.
Nze
kuzuukira nobulamu, buli akkiriza nze newankubadde afa kunsi kuno, aliiba
mulamu nate. Baliweebwa obulamu obutaggwaawo, mbabulidde emirundi mingi
bwemunakiriza munalaba ekitibwa kya Katonda. Yok 11:25,26,40.
Ekigendererwa
kyange kwekutukiriza ekyooyo eyantuma era nokukola omulimu gwe.
Kino
katonda kyayagala nti okirize masiya kitaffe gweyatuma. Yok. 4:34, 6:29.
Muwulire
olugero luno; omuntu yalina batabani be babiri. Lwali lumu omuto nagamba
kitaawe nti Taata mpa omugabo gwobusika bwange. Nekitaawe teyali
mubi namuwa. Akaseera tekayita we kaaga omwana ono nagenda nebintu bye
ewala munsi.
Eyo
gyeyadibuudira ebintu bye byonna mubulamu obutagasa. Oluvanyuma nga
esente zimuweddeko, enjala kakongoliro negwa mukitundu ekyo. Omwana
ono yesanga ngalinga omuukunseere.
Kwekusalawo
okulunda embizzi za nagagga omu olwenjala enyingi, yasalawo atandike okulya
ebikuta byembizzi naye nalowooza, abakozi bakitange balya emmere nebasindisa
bigere naye nze ndiwano ndikumpi nokulya ebikuta byembizzi. Njakuddayo
ewa kitange mugambe nti nayonoona mumaso go ne muggulu. Sikyasaanira kuyitibwa
mwaana wo naye wakiri nfuula omu kubapakasibo.
Wakati
mubirowoozo, yasituka naddayo ewa Kitaawe. Naye yali akyali wala kitaawe
namulaba, namukwatirwa ekisa, nadduka namuwambatira mumukwano ogwekitalo.
Omwana
ono nagamba kitaawe nti Taata nyonoonye muggulu nemumasogo, sikyasanira
kuyitibwa mwanawo. Naye kitaawe teyamukiriza nakumaliriza, nakyukira abakozi
nabagamba nti, mulete engoye ennungi ennyo mwambaze omwana wange. Mumuteekeko
nempeta yange, mumwambaze nengatto ennungi esinga obulungi. Mutte nente
yange esinga mu obusava tulye tusanyuke. Kubanga omwana wange ono yali
afudde naye azuukidde, yali abuze kakati mulabye. Nebatandika okusanyuka.
Naye
akawungeezi bwekatuuka, Muganda we omukulu nakomawo nekisibo ngava okulunda.
Bweyatuuka okumpi nawaka nawulira oluyogaano nabantu abazina. Kyeyava
ayita omu kubakozi namubuuza nti kiki ekigenda mumaaso? Omu kubakozi naddamu
nti anti mugandawo eyali abuze akomyewo era kitaawo amutidde ente kubanga
asanyuse nyo okumulaba.
Bweyawulira
kino, omuvubuka n'asunguwala nyo nagaana nokugenda kumbaga. Kitaawe kyeyakola
kwekugenda gyaali namugambanti nti, mwana wange jjangu osanyukire kumuno.
Naye omuvubuka naddamu nagamba nti emyaka gino gyonna nkuwerezza nesimenya
mateekago, kyokka tonkolerangayo kabaga kusanyuka nebannange, naye noddira
oli eyasalawo okuva wano nomugabogwe nomukolera embaga eyenkanidde awo.
Eya yonoona sente ze mubamalaya. Kitaawe naddamu nagambanti mwanawange
gwe obadde nange ebbanga lyonna era okimanyi bulungi nti byonna byennina
bibyo, kituufu ffe okusanyuka olwamugandawo eyali azaaye nazawuka.
Luk
15:11 - 32.
Okugyako
nga mukyusibwa nemufuka ngabaana abato, temugenda kuyingira mubwakabaka
obwomuggulu. Omwana womuntu yajja okulokola abo abaabula. Katonda tayagala
nomu kuffe okubula. Mat. 18:3, 11,14.
Kubanga
Katonda bweyayagala ensi bwatyo nokuwaayo nawaayo omwana we buli amukiriza
aleme okubula wabula abeere nobulamu obutaggwaawo. Kino mukikkiriza? Yok
3:16, 11:26.
ABAYIGIRIZWA
NA BAWEEREZA
Toyinza
kukkiriza baami babiri kukufuga kubanga okyawako omu noyagala omulala.
Oba omu omussaamu ekitiibwa omulala nomunyooma, toyinza kuweereza Katonda
ate nosigala ngokyaali muddu wa bakatonda bensi eno. Mat. 6:24
Ku
mwenna ani ategeka okuzimba omunaala atatuula wansi nabalirira namanya
oba sente zalina zimumala oba nedda. Bwekiba bwekityo kitegeeza nti
otandika naye notamaliriza. Abantu nebatandika okukusekerera nti laba
yali yepanka mbu azimba tebimulemye.
Nekabaka
ategeka okulwana olutalo asooka kwegeyamu nalaba oba eggye lye eryomutwaalo
liyinza okuwangula eggye eryemitwaalo esatu. Abawi bamagezi bwebalaba
nga'tasobole kyakola kwekutuma abakiise bagende bateese buteesa.
Nolwekyo
sooka otunulire ebibyo, ebibyo byolina amaka, ensimbi, ne byo bugagga
bwoba nga tosobode ku byefiiriza, toyinza kungoberera. Luk. 14:28 -33.
Ate
kambajjukize, omuntu omwesigwa mu bitono alisigirwa bingi, n'omuntu
atali mwesigwa mubitono taliba mwesigwa nemubingi. Oba tebakwesiga mubyobugagga
bwensi balikwesiga batya mubyo mwoyo. Era bwemutaba besigwa kubyabannamwe
muliwebwa mutya ebyamwe? Luk. 16:10 - 12.
Mbatuma
ngendiga wakati mumisege, nolwekyo mube bagezi nga emisota naye ngaate
mulina eggonjebwa nga ejjiba. Mat. 10:16.
Mulabye
bakabaka nabafuzi abensi eno nga bwebeyisa. Bakozesa obuyinza bwabwe
mungeri embi nga batikka abaavu emigugu egitetikika. Naye mwe abali
mubwakabaka ekyo sibwekiri. Eyeyita omukulu kummwe ateekwa okuba nga
yemuweereza wa banne. Nange Kristo sajja kuweerezebwa naye najja okuwereza
nokuwaayo obulamu bwange ngo'mutango olwabangi. Bwemumanya ebintu bino
musanyuke ate ngamuli bakozi baabyo.
Mak10:42
- 45.
Mutambulira
mumusana gwekigambo kyange mubeere abayigirizwa bange abanama ddala.
Temubanga bantu babulijjo, abeteekerawo amateeka era temugoberera mateeka
ago, nebweriba limu bwe liti. Baagala mukole ebyobuwangwa songa ate
bbo tebabisobola kubituukiriza. Baagala nyo okulabibwa mubantu nokuweebwa
ekitiibwa. Baagala okutuula kumwaanjo balabike mangu era baagala bayitibwe
banakinku, naye mmwe temusanidde kuyitibwa bwemutyo kubanga mulina mukama
wammwe omu era mmwe muli baganda be nebanyina.
Mulekere
awo okuyita abantu kitamwe, mulina kitamwe omu owomuggulu. Era temukkirizanga
kubayitanga bayivu kubanga waliwo omuyivu omu ye Kristo. Oyo alowooza
nti yasinga ku mwe ateekwa okusooka okuba omuweereza wamwe kubanga abo
abetoowaza baligulumizibwa. Yok.
8:13 ne Mat 23:2 -12.
Kristo
bwalikomawo mukitibwa kye nebamalayikbe, alituula ku twekobe eyekitibwa
eyomuggulu. Era mu maasoge waliku__aanira amawanga gonna, nalyoka ayawula
buli muntu okuva kumunne nga omusumba bwayawula endiga okuva kumbuzi.
Endiga zirituula ku mukono ggwe ogwaddyo, embuzi nezituula kugwa kkono.
Era
aligamba abo abali kuddyo, nti mujje gyendi mmwe kitange beyawa omukisa,
muyingire mu busika bwobwakabaka obwabateekerwatekerwa okuva ensi lwe
yatondebwa, Kubanga bwenalumwa enjala mwampa emmere, bwenalumwa enyoota
mwampa amazzi nenywa, nali mutambuze ne mumpa awokusula, ngasirina kyenyambala
naye nemumpa engoye. Bwenalwaala mwanzi jjanjaba, era bwebansiba mukkomera
mwanambulanga.
Abatuukiri
vu mubuwunikirivu balimubuuza nti twakulaba ddi ngolimuyala netukuwa emmere,
ng'oli muyonta netukuwa amazzi, ngo limutambuze netukuwa awokusula, ngolibukunya
netukuwa engoye, ngoli mulwadde netukujjanjaba era nga oli mukkomera netukulambula?
Ye alibaddamu nti mazima mbategeeza nti nga bwemwabikolera abantu bange
abaali mubwetaavu mwabikolera nze.
Naye
abo abali ku mukono ggwe ogwa kkono, alibagoba waali ngagamba nti muve
wendi, kubanga bwenali omuyala mwanyima emmere, bwenabasaba amazzi mwaganyima,
bwemwandaba nga ndaaga nonya awokusula mwangoba bugobi, saalina kyennezza
kumubiri temwampa kagoye, nalwaala nembulako ajja okundaba, bwebansiba
mwesulirayo gwanaggamba. Olwo nno nebamubuuza nti ebyo byonna byoyogera
twabikukola ddi? Ye nabaddamu nagamba nti nga bwemutafaayo kuyamba bantu
baali mubwetaavu, nze gwemwabikola.
Amangu
ago abantu abo nebasindikibwa mu kubonaabona, naye abatuukirivu nebatwaalibwa
mukifo ekyokwesiima ennaku zonna. Mat 25:31 - 46.
Mumpita
mukama wammwe era mulibatuufu, naye oba nga nze Mukama wammwe, njagala
mwetoowaze muwerezeganyenga, kubanga nze mbalaze ekyokulabirako, mukole
nga nze bwenkoze. Yok. 13:13 - 15.
EKIRAGIRO
EKIKULU
Muleke
abo abafu mumwoyo bakole ebyensi, naye mmwe abomwoyo mugende mumaaso
nokubulira obwakabaka obwomuggulu eri abantu ababwetaaga. Mat. 6:24.
Amakungula
manene agabolekedde, naye ekyomukisa omubi abakunguzi batono ddala.
Musabe Katonda aleete abakunguzi bangi. Tewali muntu atandika okulima
natunula emabega. Bwekityo bwekiri omuntu tayinza kuyingira mubwakabaka
obwomuggulu bwataba nakukiriza. Luk. 10:2, 9:62.
Mwe
abanzikiriza, mulikola emirimu egyo gyenkola nze nokusingawo, kubanga
nina okuddayo ewa kitange muggulu, oba mwagala okumpereza, mungoberere,
era gyendi nammwe abakozi bange gyemulibeera era Kitange alibawa ekitiibwa.
Yok. 14:12, 12:26.
Mugende
mulangirire nti obwakabaka obwomuggulu bubajjidde. Muwonye abalwadde,
abagenge, muzuukize abafu, mugobe emizimu, mujjukire byembagambye, obulamu
mufunye bwabwereere, namwe mukolere bwereere. Mat. 10:7,8.
Bwemuba
nga temuli bange, muli balabe bange, era buli ataku__aanyiza wamu nange
asaasaanya. Mat. 12:30.
Bwemuyitibwanga
munju yomuntu, mumusabire omukisa, mugambe nti emirembe gibe kumaka
gano, abo abali mumaka ago bwebakiriza, emikisa ginabawebwanga, era
bagenda kuganyulwa, naye bwebatakirizenga, emikisa gyammwe ginabaddiranga.
Temugaananga
kusembezebwa, naye ngamwegendereza obutaleka kibatutte, mulye munywe
musanyuke kubanga omukozi asaanidde okulya. Luk. 10: 5 -7.
Oyo
ayaniriza gwentumye, aba ayaniriza nze era abo abanyaniriza baba baniriza
kitange eyantuma. Yok. 13:20.
Mbalabula,
waliwo abantu abali bagaana okwogera abalibatwala nemu kooti, era nebabayisa
bubi, era nebagala musibwe. Olwobubaka bwange balibayita okuwa obujulizi
mubantu abatakkiriza, abafuzi, bagavana ne bakabaka.
Bwebabawabiranga
mu kooti, temutya nti temulina byakwogera. Ebyokuddamu biribawebwa mu
kaseera ako kenyini. Temwesiganga bigambo byammwe kubwammwe, omwoyo
wa Katonda alyogeranga mu mmwe. Mujjukire mubwakabaka obwensi, temuli
muddu asinga kabaka we, oba banjigganya, nammwe balibayigganya ngabababonereza
olwokuba nze. Kubanga tebamanyi oyo eyantuma munsi. Naye bwebanakirizanga
obubaka bwemututte bajjanga kubawuliriza era babagoberere. Mat. 10:17
-20.
Singa
sakola byamagero bisukkiridde mubo, bandibadde tebamanya butasobola
bwabwe. Naye abo abagaana amazima balabye ebya magero, bankyaawa era
bakyawa kitange. Naye bino byonna bikoleddwa obunabbi butuukirire obugamba
nti bankyaawa awatali nsonga. Yok. 15:22 - 25.
Ndeese
muliro kunsi. Nga njagala okugulaba nga gwaka. Mulowooza nti najja kuleeta
mirembe nabukakkamu? Nedda nakatono, najja kuleeta kwawukana, okuva
leero munju bwemunaabangamu abantu abataano, abasatu baneyawulanga kubabiri,
nababiri baneyawulanga kubasatu. Luk. 12: 49 -53.
Ensi
bwenekukyawanga, jjukira nti yasooka kukyawa nze, bwebanakuyigganyanga
mu kifo, Vvaawo ogende mukirala. Ebifo byonna togenda kubimalayo nga
Yesu tannadda. Ekibuga bwekikugaana ggwe oba okuwuliriza obubaka, kunkumula
enfuufu yomubigerebyo mu kibuga ekyo. Tegeera kino nti kulunaku olwenkomerero
abomukibuga omwo baligamba nti senga twaali mu Sodoma ne Gommola okusinga
okubeera mukibuga ekyo. Mat. 10:23
Bwemunakopanga
ensi, ensi egenda kubagala. Naye bwemunagobereranga amakubo gange, ensi
eribanyooma era nebakyawa. Yok. 15:19.
Awulira
ebigambo byemwogera awulira nze, era naabo ababanyooma olwebigambo byemubagamba
banyooma nze. Mukugaana nze baganye kitange eyantuma. Mugumiikirize
ebyo byonna olwelinnya lyange. Temutya mugende mumaaso mulilokolebwa.
Luk. 10:16 Mat 10:2
Ebigambo
bino mbyogedde nga njagala mutegere nti bwemuba munze, nemugoberera ebigambo
byange, munafunanga emirembe. Munsi eno mulimu okulumwa nemitawaana, naye
mube basanyufu nze ensi nagiwangula. Yok. 16:33.
OKUSABA
KWA KRISTO OLW'ABAYIGIRIZWA BE
Taata
essaawa etuuse, weesa omwanawo ekitibwa naye akuweese ekiitibwa, kubanga
omuwadde obuyinza kubuli musajja nomukazi ali kunsi, abawe obulamu obutaggwaawo
abo bomuwadde. Yok. 17:1 - 26.
Buno
bwebulamu obutaggwaawo, okumanya ggwe katonda omu yekka owamazima ne
Yesu kristo gwewatuna. Nkusizaamu ekitibwa kunsi bwemmaliriza omulimu
gwe wantuma okukola. Kakati taata laga ekitibwa kyange nganyimiridde
mumaaso go, ekitibwa kyenalina muggulu nga nensi tenabaawo. Maze okukulaga
abantu bompadde munsi, baali babo era nobaampa, era bawulidde ebigambo
byo ebyobulamu obutagowaawo. Bategeredde ddala nti byonna byembaletedde
bivudde gyoli. Mubwesigwa mbawadde ebigambo byewantuma okubagamba, era
bakkiriza, bategeredde ddala nomutima gwabwe nti nnava eri Katonda,
ggwe wantuma gyebali.
Sisabira
nsi yonna, naye abo bompadde kubanga mumazima babo. Bonna abanzikiriza
babo era banzisaamu ekitibwa kati. Nzijja gyoli muggulu naye abo abanzikiriza
basigala munsi. Bakuume namaanyi agelinna lyo bonna babeere ekintu kimu
ngaffe bwetuli ekintu ekimu.
Bwenali
nkyali nabo munsi, nabakuumanga namaanyi gali gewampa. Nabetoloola era
tewali nomu eyambulako okugyako oyo ebyawandikibwa gwebyogerako, bisobole
okutuukirira. Kakati nzijja gyoli, naye nkusaba ompe bino nga kyaali
munsi basobole okutegeera nti babo.
Mbawadde
ekigambo kyo era ensi ebakyaye, kubanga tebakyaali bakizikiza kyensi
eno nganange bwessiri. Sikusaba ku baggya munsi naye nkusaba obakuume
okuva eri omulabe. Bafuuke abatuukirivu namazima go kubanga ekigambo
kyo gemazima.
Nga
bwe wantuma munsi nange mbatuma, mbasabira olwobulungi bwabwe babe batukuvu
bakule mu mazima. Sisabira abo bokka naye era n'abo abagenda okukiriza
mumyaka egigya. Bonna babe nomutima gumu, nendowooza emu nganze nawe
bwetuli. Babe muffe ensi eryoke emanye nti ggwe wantuma.
Mbawadde
ekitiibwa kyewampa, babe omuntu omu ngafe bwetuli omuntu omu. Ku kino
ensi kwerimanyira nti ggwe wantuma. Era obaagale nga bwewayagala nze.
Olunaku lumu balibeera nange nebalaba ekitiibwa kyange kyewampa okuva
kuntandikwa yensi eno.
Kitaffe
omulungi era owamazima, ensi tekumanyi naye nze nkumanyi, era abo abanzikiriza
bamanyi nti gwe wantuma. Nkubalaze era nja kwongera okubakumanyisa nokwagala
kwolina gyebali kubeere mumitima gyabwe era nange mbeerenga mubo. Kibeere
bwekityo.
Yok. 17: 1 - 26.
|